OMUZUNGU Andrew Wilson amalirizza okuwaayo obujulizi ng’abuulira kkooti ebyaliwo wakati we ne Dr Kizza Besigye n’abawawaabirwa abalala.
Wilson afundikidde n’okuwaayo akuuma akatereka obutambi bw’ebifaananyi n’amaloboozi okuli obutambi bwonna bwe yakwata mu nkiiko ez’enjawulo ze yasisinkana Dr. Besigye ne banne.
Kati bannamateeka ba Hajji Obed Lutale ne Capt Ooola be baddako okumusoya ebibuuzo kw’ebyo by’azze abuulira kkooti ku bawawabirwa. Wilson asoose kubuulira kkooti nti bwe yali asisinkanye Besigye ne Lutale e Kenya ku Riverside Apartment abaserikale eno gye babasalirako era obutambi bw’ebifaananyi ne busiimuka nga tabuterese.
Ono era abuulidde kkooti nti Besigye bwe yali aluka olukwe okutta Museveni n’okuwamba obuyinza yamutegeeza nti Amerika yakoowa dda Museveni era tebakyalina nkolagana ya maanyi ne gavumenti ye ng’ate Europe ne France abaali bakyakolagana ne gavumenti ya Museveni baali tebalina kya maanyi kye bamuyamba.
Bino era bibadde mu butambi bwa maloboozi obuzanyiddwa mu kkooti obw’olukiiko olwaliwo nga November 16, 2024 e Nairobi Besigye bwe yategeezezza Wilson nti yali tayinza kukolagana ne Bobi Wine kubanga bwe yamusengejja mu kalalulu ka 2021 yalaba nga teyali ssiriyaasi wadde ng’abawagizi be kye baaliko baali bakitegeeza.
Besigye era awulirwa ng’agamba nti ekibiina kya Bobi Wine kyali kijjudde bambega ba gavumenti nga tayinza kukolagana mu nsonga enkulu nga ze yaliko ez’okutta museveni n’okuwamba gavumenti.
Kati bannamateea ba Lutale ne Oola bagenda kumusoya ebibuuzo nga September 15,2026 omusango lwe gugenda okuddamu.