Batiisatiisizza okuleka amazzi g’emidumu badde ku g’ekibidiba lwa bbeeyi

Abatuuze mu ggombolola y’e Kigandalo n’e Bubukabooli mu disitulikiti y’e Mayuge bavuddeyo ne bategeeza nga bwe bagenda  okuva ku mazzi g’emidumu agaazimbibwa mu kitundu kyabwe aba National Water and Sewerage Cooperation badde ku g’ebidiba lwa bbeeyi kubeera waggulu.

Nakadama ng'ayogera eri abatuuze
By David Kibuuka
Journalists @New Vision
#National Water and Sewerage Cooperation #Mayuge #Lukia Isanga Nakadama

Bagamba nti okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna, amazzi batuuse okugavaako ssinga ebisale tebabikendeezaako.

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’e ggombolola y’e Bukabooli, Amuza Isabirye baategeezezza nti okuva amazi g’emidumu lwe gazimbibwa ne gasembezebwa mu maka gaabwe, baafuna akalembereza nga bakozesa amazzi amayonjo n’okuwona okutindigga olugendo kyokka  ebisale bibalemesezza.

Lukia Isanga Nakadama Nga Agulawo Nakonto

Lukia Isanga Nakadama Nga Agulawo Nakonto

Lukia Nakadama ng'aggulawo nnayikonto

Kyokka omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mayuge era (third deputy prime minister and minister without portfolio) Lukia Isanga Nakadama abadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okuwaayo amazzi gano, agugumbudde ab’ekitongole ky’amazzi olw’okusulangawo obuvunaanyizibwa bw’okuddaabiriza ebintu ebibabibakwasiddwa olwo omusimbi oguba gutereddwaamu ne gutokomoka mu kaseraakatono.