Bya Vivien Nakitende
KASASIRO wa pulasitiika n’obuveera takoma kukosa ttaka lyokka, n’amazzi ge tunywa agava mu nnyanja, emigga n’enzizi nago gakosebwa.
Ab’ekitongole ky’amazzi mu ggwanga ekya, National Water and Sewerage Cooperation (NWSC), bagamba nti, bakozesa ssente mpitirivu okusengejja amazzi okutuuka ku mutindo, olwa kasasiro ageetabikamu nga kibeetaagisa ebikozebwa bingi okugalongoosa.
Tomansa Kasasiro
Samuel Apedel, omwogezi w’ekitongole kya NWSC mu ggwanga agamba; Pulasitiika wa bika bibiri, waliwo ebicupa ebinene ebirabika, ate waliwo n’obupapajjo obutono ennyo obutalabika.
Buno bwa mutawaana nnyo mu mazzi, ne ku bulamu bw’abantu, bubeera mu mpewo n’ebyokulya ebiriibwa abantu. Obupapajjo buno bwe tuyita ‘Micro plastics’ buva mu kukunya oba okunyiga pulasitiika omunene ne muvaamu obwo obutono obutambuzibwa empewo n’omuyaga.
Buva mu bintu ng’obuveera, ebicupa bya pulasitiika, obuseke (straws), n’ekintu kya pulasitiika kyonna ekirala. Olw’okuba bufuumuuka, busobola okugwa ku bintu bingi ebikozesebwa abantu nga n’amazzi mw’ogatwalidde, busangibwa ne mu bintu ebikozesebwa ng’ebizigo, eddagala ly’amannyo, n’ebirala naye nga bangi ababikozesa tebamanyi.
Obuzibu bwa pulasitiika n’obuveera tebivunda kuggwaawo, bitwala emyaka n’ebisiibo nga mwebiri tebivunze, ekyonoona obutonde.
Abantu okwongera okukozesa pulasitiika, kireese obuzibu embeera y’obudde ate nga bisuulibwa buli wamu, ne biggweera awakuhhaanira amazzi; mu nnyanja, enzizi, emigga n’awalala.
Samuel Apedel
Obutundutundu bwa pulasitiika obugwa mu mazzi naddala mu nnyanja, buliibwa ebyennyanja n’ebirala ebibeera mu mazzi ate abantu ne bamaliriza nga nabyo babiridde. Omuyaga, amazzi agatambula, mukoka n’empewo bye bisinga okutambuza pulasitiika. Obupapajjo buno tebukoma kwonoona mazzi gokka, buleeta n’endwadde ezitambuzibwa empewo (airborne), abantu babussa (breath in) ekibaleetera okufuna endwadde, bufuumuuka. buva ku ngoye, carpets n’ebirala.
Eky’obulabe ekirala obupapajjo obutono buno era tubuliira mu mmere. Emmere ebikkiddwaako ekintu oba essowaani ya pulasitiika naddala mu kugitegeka. Pulasitiika bwe yeetaba ku bbugumu, avaamu obupapajjo obutono ennyo ne bugenda mu mmere. Obuzibu bwa pulasitiika bunene; ayonoona empewo, ettaka n’obulungi bw’amazzi.
Dr. Callist Tindimugaya, kamisona wa ‘Water Resource Planning and Regulation’, mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi agamba; Obuveera n’obucupa bicaafuwaza ennyanja, emigga, enzizi, n’ettaka ate bulina ekirungo ekibi eri obulamu bw’abantu n’ebikozesebwa byonna omuli n’ettaka.
OKWEWALA PULASITIIKA
Tudde ku Stainless bottles, obutaddamu kugula mmere eri mu pulasitiika, okwewala pulasitiika alambiddwaako akagambo “recycle”, okwewala okufumbira oba okukozesa ebyokya mu pulasitiika, ebyokya biganya pulasitiika okuvaamu chemicals amangu, twewale amazzi g’omu bucupa.
Pulasitiika akoleddwa mu kirungo kya Polystyrene asangibwa mu bintu nga; obugiraasi oba obukopo obukozesebwa omulundi ogumu (disposable cups), avaamu ‘chemical’ owoobulabe.