Musabirenga abakulembeze abali mu ofiisi ezisalirawo eggwanga - Bp. Luwalira

OMULABIRIZI w’e Namirembe, Bp. Wilberforce Kityo Luwalira akubirizza abantu okusabiranga abakulembeze naddala abo abali mu ofiisi ezisalirawo eggwanga n’ebitongole eby’amaanyi.

Musabirenga abakulembeze abali mu ofiisi ezisalirawo eggwanga - Bp. Luwalira
By Ddamba Tadeo
Journalists @New Vision
#Amawulire

Okwogera bino abadde ku kitebe ky’amazzi ekya Kampala Water ekisangibwa mu Industrial Area Mu kampala bw’abadde agenze okusabirako awamu n’abakozi mu kitongole ky’eggwanga ekivunaanyizibwa ku mazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation.

Ying Mugisha akulira ekitongole, ng'abuuza ku Bp Luwalira.

Ying Mugisha akulira ekitongole, ng'abuuza ku Bp Luwalira.

Bp. Luwalira awerekeddwako akulira ekitongole ky’enjiri mu Bulabirizi bw’e Namirembe Rev. Samuel Muwonge, ssaako omuwandiisi wa Lutikko Rev. Can. Henry Ssegawa ne Chaplain Rev. Agnes Ssemwanga.

Rev. Muwonge ategeezezza nti abazadde n’abaana beetaaga Katonda kubanga abaana abali mu masomero beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ate abazadde basudde obuvanaanyizibwa bw’okubabuulirira.

Abakozi ba NWSC abeetabye mu kusaba kuno.

Abakozi ba NWSC abeetabye mu kusaba kuno.

Omulabirizi Luwalira mu kubuulira ategeezezza nti abakulembeze balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi eri nga bye babasalawo eggwanga kwe litambulira wabula abantu abasinga mu kifo ky’okubasabira ate bavumirira nsobi zaabwe.

Ono agambye nti abakulembeze bano beetaaga kusabira nnyo Katonda abalungamye kubanga y’emu ku ngeri gye baweereza abantu mu bulambulukufu.

Oluvannyuma lw’okusaba Rev. Muwonge atongozza kampeyini y’okusonda ensimbi okumaliriza ekizimbe kya Mission House nga kino kigenda kuyambako emirimu egy’obulabirizi egitali gimu.

Rev. Muwonge ne Maneja wa Kampala Water Lutaaya nga bakung'aanya ssente za Mission House.

Rev. Muwonge ne Maneja wa Kampala Water Lutaaya nga bakung'aanya ssente za Mission House.

Abakozi basonze ensimbi era ettu okuva mu kitongole kino liwereddwayo abakikulira okuli Ying. Silver Mugisha n’omumyuka we.

Ying. Mugisha yeebazizza Bishop olw’okukkiriza n’ajja okusabira awamu n’abakozi era ne yeebaza abakozi okwetaba mu kusaba n’okukkiriza okuwaayo olw’omulimu gw’Ekkanisa.

Ying. Mugisha ng'ayogera.

Ying. Mugisha ng'ayogera.