Emiranga, ebiwoobe n'okwaziirana mu kuziika aba famire emu abafiiridde mu kabenje

ABAKULEMBEZE b’enzikiriza basabye abantu okusabira ffamire z’abantu omwenda abaafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ye yakulembedde okusaba mu St. James e Seeta.ABAKULEMBEZE b’enzikiriza basabye abantu okusabira ffamire z’abantu omwenda abaafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ye yakulembedde okusaba mu St. James e Seeta.

Omwami n’omukyala Ntege abaafudde n’abaana baabwe babiri.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE b’enzikiriza basabye abantu okusabira ffamire z’abantu omwenda abaafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ye yakulembedde okusaba mu St. James e Seeta.
Baabadde basabira ffamire eyasaanyewo eya Christopher Ntege, mukyalawe Cinderella Butesi n’abaana baabwe; Jayden Alvin Nsibambi Ntege ne Gianna Florence Nabakka Ntege.
Ffamire ya Ntege yaziikiddwa e Namayiba mu ggombolola y’e Nakisunga e Mukono. Omulabirizi Kitto yasabye bannadiini ab’enzikiriza ez’enjawulo n’abantu bonna okussa ffamire y’abantu bano mu ssaala zaabwe olw’ekikangabwa ekyabatuuseeko.
Alice Ssenoga maama w’omugenzI Ntege yayogedde ku mutabani we ng’abadde empagi  luwaga okuyimirizaawo ffamire bukyanga omwami we amufaako.
YINGINIYA W’AMAZZI NE MUKYALAWE BABAZIISE LUWEERO
Yinginiya Francis Bbaale 38, ne mukyala we Mercy Nakaweesa 33 baabaziise Ndejje mu disiut likit i ye Luweero. Eggulo nga tebannaba kusimbula kugenda Luweero, basoose kusabira bagenzi mu maka gaabwe e Wabitembe e Kawanda mu ggombolola ye Nabweru. Katikkiro eyawummula, Ying. JB Walusimbi yasaasidde nnyo abazadde okufiirwa abantu ababadde abomugaso mu ggwanga ate nga nga kati mukama yalina okubagumya.
Eyakulembedde okusaba, Ordinanard Zimula bwe yabadde awa obubaka bwe avumiridde abantu abasalira bannaabwe emisango nga bamaze okufa nga Mukama yabategekera olunaku lwebagenda okufa.
Bbaale abadde yinginiya mu kitongole ky’amazzi (National Water and Sewerage Cooperation) ettabi ly’e Bwaise yafudde ne munne Samuel Mutyaba Abalala abaafudde ye Joseph Sserunkuuma neWycliff Kabugo. Bano omwenda baabadde batambulira
mu mmotoka Alphad UBL 314C nga bagenda e Isingiro gye bazaala Butesi. Akabenje
baakafunidde Kyoko - Kagganda mu koona e Lwengo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mmotoka yaabwe bwe yatomereganye ne lukulula bonna ne bafiirawo.