EKITEBE kya America mu Uganda kitaddewo ssente ezisoba mu buwumbi 30 okuwola Bannayuganda n’abanoonyi b’obubudamu ssente batandikewo bizinensi zaabwe.
Ekyama kino kibotoddwa omubaka wa America mu Uganda William Pop bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku lukung’aana oluggalawo omwaka ku Jesuit Refugee Services e Nsambya.
Abamu Ku Banoonya Obubudamu Nga Bayiga Okutunga N’okufumba Ku Jesuit Refugee Services E Nsambya
Yagambyenti bakolaganye ne bbanka emu wano mu ggwanga egenda okusunsulamu abasaanidde okufuna ssente ezo olwo bababuulire mwe bayita okuzifunamu.
Pop agambye nti kino bakikoze okukendeeza ku banoonya obubudamu okwesigama ennyo ku bugabirizi ate ne bannayuganda abatali babudamu babeereko ne kye beekolera mu bitundu gye babeera n’abanoonya obubudamu.
Enkola eno mu mawanga ga Africa agabudamya ababundabunda esookedde mu Uganda ku buli muntu anaaba asunsuddwa waakufuna okutandikira ku mitwalo mukaaga abeeeko ky’akolamu.
William Pop ng'ayogera.
Ono era yagambye nti abantu tebasaanidde kutya olwembeera y’ebyobufuzi egenda mu maaso mu America n’awalala nti eyinza okukendeeza Ku buyambi bwe babadde bawereeza mu Uganda.
Uganda y’emu ku nsi za Africa esinga okubudamya ababundabunda ng’esenza abantu abasoba mu kakadde kamu n’emitwalo 70 abava mu mawanga agaliraanyeewo.
Chris Jones akulira Regional Refugee coordinator yagambye nti basanyufu kubanga ababundabunda abamu beetegefu okudda ewaabwe nga waliwo ne be baakazzaayo e Burundi mu ngeri ya kyeyagalire.
Ono yayaongeddeko nti bannayuganda bangi era bafunyeemu mu bitundu ebireetebwa okuyamba ababudami naddala amasomero, amazzi amayonjo, amalwaliro, n’ebintu ebirala ebireetebwa okuyamba abagwira abajja kuno olw’obutabanguko mu nsi zaaabwe.