Poliisi e Bushenyi, ekutte taata agambibwa okukkakkana ku mukyala we n'abaana baabwe basatu n'abatema n'okubakuba obukumbi ku mitwe n'abatta.
Dennis Oweyesigyire 40, omutuuze ku kyalo ky'e Binyonyi two e Lubirizi mu Bushenyi, y'agambibwa okutta mukyala we Asanansi Musimenta 28, wamu n'abaana okuli Andrew Akandwanaho 4, Javiira Akanijuka 3, ne Devis Atwijukire ow’emyezi ebiri oluvannyuma n'adduka.
Kigambibwa nti okuttibwa kw'abantu bano, kyaddiridde okuyombagana n'obutakkaanya obwabaddewo nti n'oluvannyuma omusajja kwe kukwata ejjambiya n'akakumbi n'abatemaatema n'okubakuba ku mitwe ng'emisota n'abattira awaka.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Eanga, agambye nti basobodde okumukwatira ewa Kitaawe e Kannungu ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.