Mmotoka y'abalambuzi egaanyi okusiba n'etta Omumerika n'erumya abalala 3

Omu ku balambuzi afiiriddewo n'abalala basatu ne baweebwa ebitanda, mmotoka mwe babadde batambulira bw'eremeddwa okusiba n'egwa ne yeevulungula n'esibira ku lutindo lwa Kyeshero.

Mmotoka y'abalambuzi egaanyi okusiba n'etta Omumerika n'erumya abalala 3
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kulambula #Bulambuzi #Mumerika #Kutta

Omu ku balambuzi afiiriddewo n'abalala basatu ne baweebwa ebitanda, mmotoka mwe babadde batambulira bw'eremeddwa okusiba n'egwa ne yeevulungula n'esibira ku lutindo lwa Kyeshero.

Akabenje kabadde ku kyalo Kakureiju mu disitulikiti y'e Kannungu, mmotoka Land Cruiser nnamba UAM 271 U bw'egudde n'etta Harrison Evan Shuldman 40, omumerika okuva e  New York.

Abalala abalumiziddwa, kuliko Zachary Avayou, 39 ng'ava Pennsylvania, Fredrick Jeremy Wright 25, nga ye w'e California ne Alpha Dadaire 33 nga ye ddereeva.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti, abalumiziddwa, babatutte mu ddwaaliro e Bwindi ate emmotoka n'etwalibwa ku poliisi e Kihihi ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.