Agambibwa okunyaga obukadde 500 bammemba bamuggyeemu obwesige

BAMMEMBA b'ekibiina kya Bbonna bagaggawale mu disitulikiti ye Rukungiri baggye obwesige mu abadde ssentebe w'ekibiina kino mu bugwanjuba bw'eggwanga nga bamulanga kubanyaga ssente ng'abasuubiza ebintu okuva ewa Pulezidenti Museveni.

Peace Rugambwa aggyiddwamu obwesige
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
BAMMEMBA b'ekibiina kya Bbonna bagaggawale mu disitulikiti ye Rukungiri baggye obwesige mu abadde ssentebe w'ekibiina kino mu bugwanjuba bw'eggwanga nga bamulanga kubanyaga ssente ng'abasuubiza ebintu okuva ewa Pulezidenti Museveni.
 
      Peace Rugambwa, bammemba gwe baggyemu obwesige nga basinziira ku bukadde 500 zebagamba nti yaziggya ku bammemba b'ekibiina emitwalo 4 e Rukungiri (buli mmemb 12000/=) ng'abasuubizza pulojekiti y'okulima obutungulu kyokka ne batabufuna.
 
Ensisinkano y'okumaamula Rugambwa mu kibiina yabadde ku Okapi Hotel e Rukungiri era nga bammemba okussa ekimu n'abakulembeze abalala, baasinzidde kubiragiro Pulezidenti byeyawa ssaako okulungamya Minisita w'obutebenkevu Maj Gen Jim Muhwezi kweyakola.
 
Moses Tukesiga abadde amyuka Peace ng'annyonnyola

Moses Tukesiga abadde amyuka Peace ng'annyonnyola

      Okusinziira ku amyuka ssentebe w'ekibiina kino mu bugwanjuba bw'eggwanga, Moses Tukesiga, yategeezezza nti basazeewo okujja obwesige mu Rugambwa oluvannyuma lwa Rugambwa okunyomoola Pulezidenti Museveni bye yalagira...
 
Tukesiga yagambye nti, oluvannyuma lwa Rugambwa okugaana okukolagana n'abakulembeze ba disitulikiti, baasazeewo okumwejjako olwo batambuze ekibiina n'abantu abali ku mulamwa.
 
 "Tukkaanyizza kimu nga ffe ab'e Rukungiri era tugenda kwetongola tukolagane n'abakulembeze ba disitulikiti olwo tusisinkane pulezidenti nga tulina omulamwa kwe twali tutandikidde." Tukesiga bweyayongeddeko.
 
      Yagambye nti kye bagenda okuzzaako kwekuddamu okutereeza amannya gaba mmemba bonna era bazuule naabo Rugambwa nti beyaggyako ssente, nga kino Pulezidenti kyalinze okuddiza abantu ssente zaabwe.
 
      Yayongeddeko nti baakizudde ng'ekibiina Rugambwa yakiwandiisa mu mannya 3 ag'ekiyaaye okuli Bonna bagaggawale Nyekundire Group, Bonna bagaggawale Nyekundire Group Limited ne  Team Peace Bonna bagaggawale  South Western Nyekundire Group.
 
      Yagambye nti singa ssente Pulezidenti yaziteeka ku akawunta y'ekibiina, zandigenze kuya Bonna bagaggawale Nyekundire Group Limited bammemba gye batalinaako bwanannyini.
      Yagumizza bammemba nti batandikidde Rukungiri, bagende e Ntungamo ne Kannungu balabe nga bammemba baterezebwa mubiwandiiko by'ekibiina ekituufu.
      Ye ssentebe wa Bonna bagaggawale Nyekundire Group mu disitulikiti ye Rukungiri Topher Karabaayi yagambye nti baatandika omulamwa gw'ekibiina nga gwakulima butungulu kyokka emyaka 8 Rugambwa gyamaze mukibiina, abadde muntalo zokka.
      Yagambye nti okulima obutungulu bwe kwamulema, nasalawo okutekawo ekibiina ekirara ekiriko Limited olwo ssente zonna ezigenda mu kibiina ng'azilya yekka.
      "Tetulina ssemateeka akwata ku kibiina, akawunta y'ekibiina tetugimanyi, ebiwandiiko ebinnyonnyola ekibiina yagaana okutuwaako kkopi, ng'agamba nti ebyo tebitukwatako." Karabaayi bweyayongeddeko.
Bammmemba nga bajaganya oluvannyuma lw'okuggyamu Peace obwesige

Bammmemba nga bajaganya oluvannyuma lw'okuggyamu Peace obwesige

 
      Yagambye nti Rugambwa yalaba abantu bamulemeddeko, kwekusalawo okubalimbalimba natwalayo emifaliso 20 ne bulankiti, kyokka nga bino bekubisizaako bifaananyi era oluvannyuma nabizaayo.
 
      Yagambye nti webaazulira nti ekibiina ekikoleddwa kyabufere, kwekuba nti neba ssentebe b'ebyalo yagaana okukolagana nabo ng'agamba nti pulojekiti ya Pulezidenti yagimukwasa agiddukanye naba mmemba abalina okugifunamu.
 
Karabaayi yayongeddeko nti Rugambwa batuuka n'okumuyita mu lukiiko olwatuula nga November 6, 2024 okusalawo ku Pulezidenti Museveni bye yalagira, kyokka natalabikako, ekintu nti ekyaatabula bammemba.
 
      Ye munnamateeka Jonathan Bwagi yawadde bammemba enjawulo wakati w'ekibiina ekiri Limited nekyo ekitali erfa nabalabula okuba ab'egendereza nti kuba Rugambwa alabika yababikka akagoye.
 
      Bwagi yagambye nti bammemba bwebaba nga alisiiti zebalina teziriiko Limited, baddembe okumuggulako omusango abaddize ssente zaabwe, kuba ssemateeka alambika nti bano bebakola ekibiina.
 
      Bukedde bweyagezezaako okutukirira Peace Rugambwa ku ssimu, eyagikutte yeyanjudde nga ye Irene Komuhangi (muganda wa Rugambwa) eyategezezza nti Rugambwa abasawo baamuganye okwogera ku ssimu ebbanga eritali ggere.
      Kyokka ono yalambise nti eby'okujja mu Rugambwa obwesige bifu kuba nti abaakikoze tebalina musingi kwebasinziira kukola ekyo.