Amawulire

Basiimye omugenzi Faaza Dr. Ssempungu

Omugenzi Faaza Dokita David William Ssempungu abadde omuyambii w’omukulu w’ekigo ky’e Ntinda eyafiira mu ddwaliro e Nsambya oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa kkookolo aziikiddwa mu limbo y’Abaseserdooti ku Seminario ento ey’e Kisubi.

Fr. Dr. David William Ssempungu..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Mathias Mazinga

Omugenzi Faaza Dokita David William Ssempungu abadde omuyambii w’omukulu w’ekigo ky’e Ntinda eyafiira mu ddwaliro e Nsambya oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa kkookolo aziikiddwa mu limbo y’Abaseserdooti ku Seminario ento ey’e Kisubi.

Abantu ab’enjawulo eno gye basinzidde n ebamutendereza olw’ekisa ekingi ky’abadde alina eri abanaku ate ggwe wamma n’omulimu omulungi ogw’okugunjula n’okutendeka Abasaserdooti gw’akoledde mu seminariyo ez’enjawulo.

Abamu ku baamusiimye ye Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere eyakulembeddemu eMmisa ey’okumuwerekera.

Ssabasumba yagambye nti Faaza Swempungu abadde n’omutima omugazi ogwaniriza n’okujuna abanaku ate ng' abadde ayagala nnyo Obsaserdooti bwate ng’abwagaza n’abalala. Y’amusiimye n’okwagala ennyo Klezia Katolika, ate n’okugitendekera Abasaserdooti.

Faaza Emmanuel Mwerekande omu ku bantu abangi Faaza Ssempungu, be yayamba, omugenzi yamwogeddeko ng'Omusaserdooti ow’ekisa ekingi, eyayagalanga ennyo okujja abantu mu buyinike n’ababudaabuda era n’abawa obusobozi ne bafuuka abaweereza abalungi aba Klezia n’eggwanga.

Bwanamukulu w’e Ntinda, Faaza Edward Muwanga yagambye nti Faaza Ssempungu abadde Musaserdooti omukkakkamu, omwetoowaze, assa ekitiibwa mu balala, atalina mu lugube gwa bintu era nga buli kyonna ky’abadde alina akikozesa kuyamba balala.

Faaza Ssempungu w’afiiridde abadde akolera mu kigo ky’e Ntinda ng’omuyambi wa Bwanamukulu.

Wabula nga tannatwalibwayo mu mwaka 2021, yali asomesa mu Seminario enkulu eya St. Mary’s National Seminary Ggaba, gye yamala emyaka egikunukkiriza mu 22. Ate era yasomesaako ne mu Seminario ya St. Mbaaga e Ggaba, ne St. Paul’s National Seminary Kinyamasika.

Y’azaalibwa mu kigo ky’e Kibanga, Mawokota, mu disitulikiti y’e Mpigi. Obusaserdooti bw’amuweebwa omugenzi Kalidinaali Emmanuel Nsubuga mu 1979.

Tags:
omugenzi
Faaza Dr. Ssempungu
basiimye