Amawulire

Abooluganda batabukidde omusika wa kitaabwe ne batunda ettaka

OBUTAKKAANYA bubaluseewo mu famire wakati w’omusika ne baganda be ng’entabwe eva ku ngabana ya yiika z’ettaka 21 omugenzi kitaabwe ze yaleka.

Kawooya ng’alaga ennyumba ya kitaawe eyeetooloozeddwa omusingi gw’ekikomera.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OBUTAKKAANYA bubaluseewo mu famire wakati w’omusika ne baganda be ng’entabwe eva ku ngabana ya yiika z’ettaka 21 omugenzi kitaabwe ze yaleka.
Ettaka lino lisangibwa Kitala mu zzooni ya Bukandekande mu bitundu by’e Ntebe nga lyali lya mugenzi Louis Kibirige eyasikirwa mutabani we Emmanuel Kawooya Kibirige, 72, baganda be gwe bataddeko akazito nga kati ali mu kutya okutagambika.
Abamu ku booluganda abeesomye okuli Joseph Kakande bawera nti si baakussa mukono okutuusa nga nabo bafunye omugabo ku mmaali ya kitaabwe
KAWOOYA ALOJJA
Bukedde yayogeddeko ne Kawooya eyalaze ebiwandiiko omuli kkopi y’ekiraamo ekyawandiikibwa ekiriko ennaku z’omwezi October, 10, 1981 ne kikyusibwa ab’ettendekero ly’e Makerere mu Lungereza nga June, 19, 2025. Yagambye nti ettaka liwerako yiika 21 wadde ekitundu kya yiika omugenzi yafa amaze okukigabira ekkanisa ya St Joseph Bukandekande Sub Parish.
Kawooya yagambye nti abasalaasala ekibanja kye bazze bamuwendulira ebibinja by’abavubuka abakutte amajambiya ne batema emiti ku kibanja kye okukoona enzigi z’ennyumba mw’asula mu kiro ssaako okumuweereza ababaka nga bwe bajja okumutuusaako obulabe.
Kyokka bino Ssentebe w’ekyalo Bukandekande, Geofrey Mugerwa amanyiddwa nga London abiwakanya n’agamba nti Kawooya n’aba famire ye bamanyi ensonga ezivaako abantu okusala n’okutunda poloti ku ttaka lino. Nga bw’alaga ebiwandiiko bye yayogeddeko nti biraga Kawooya bw’azze atunda ebimu ku bibanja era ky’agamba nti kye kinyiizizza aba famire, Mugerwa agamba nti azze awa Kawooya n’aba famire ye amagezi ensonga bazoolekeze abamusingako ng’alaba zimususse obusobozi.
OWA FAMIRE AKKIRIZZA BW’ATUNDA
Joseph Kakande yakkirizza bw’ali emabega w’okutunda, okusenda n’okutema emiti gy’omu kibanja kya Kawooya.
“Siri omu, ndi ne bannange bwe tuzaalibwa ne Kawooya. Eryo ettaka lya Bwakabaka era ku biwandiiko bya Buganda taliiko omu. Tuvunaanyizibwa kyenkanyi ku kugabana emmaali ya kitaffe kyokka munnaffe atunda ateeka mu nsawo ye, ” Kakande bwe yeebuuzizza.
BABITUUSIZZA MU KAKIIKO
AKALWANYISA ENGUZI
Ezimu ku bbaluwa Bukedde ze yafunyeeko kkopi, ziraga Kawooya bwe yeekubira enduulu eri akulira akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti Brig. Gen. Henry Isoke nga August, 19, 2025.
Ekimu ku kiwandiiko kikoona ku linnya lya muganda we Joseph Kakande ne batabani be Paul Jingo ne Stephen Takeeta nti baalabibwa nga balambuza n’okutunda poloti ku ttaka lino nga bayambibwako obukulembeze bw’ekyalo.

Tags: