BANNAYUGANDA abavundira mu makomera g’omu Buwalabu naddala e Saudi Arabia bafunye essuubi ly’okuyimbulwa! Kino kiddiridde minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, Esther Anyakun, okubissaamu engatto n’agenda e Saudi Arabia alondoole ensonga za Bannayuganda abaasibibwa mu makomera gaayo olw’ensonga ez’enjawulo.
Anyakun yasinzidde mu lukiiko olwatudde ku ofiisi ya Pulezidenti mwe baasisinkanidde kkampuni ezaatwala abantu mu mawanga g’Abawalabu ne bateesa ku nsonga y’okukukusa ebiragalalagala.
Yagambye nti yasisinkanye minisita wa Saudi Arabia ow’ensonga z’ebweru ne batuuka ku nzikiriziganya y’okuyimbula Bannayuganda abali mu makomera ku misango emitonotono egitali gya nnaggomola.
Kyokka abo abalina emisango egy’amaanyi ng’okukukusa ebiragalalagala n’emirala eminene bajja kusooka kukola bibonerezo ebibaweebwa mu mateeka. Enjuyi zombi zeewadde emyezi ebiri buli ludda lukuhhaanyizeemu amannya g’abasibe bonna era baddemu okusisinkana mu January wa 2025 olwo balabe engeri gye bayimbulwamu.
Minisita okugenda e Saudi Arabia kyaddiridde Bukedde okufulumya emboozi mu katabo ka Bukedde ku Wiikendi nga October 12-13, 2024 n’alaga nti Bannayuganda 103 bavundira mu makomera ag’enjawulo mu mawanga ga Buwalabu naddala e Saudi Arabia. Anyakun yagambye nti Pulezidenti yafunye okwemulugunya okuva e Saudi Arabia nga Bannayuganda abagenda okulamaga ku Hijja ne Umra abamu bwe bakwatibwa n’ebiragalalagala.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Bannayuganda abakolera n’okubeera mu mawanga g’Abawalabu agali mu Middle East, Dr. Mohamed Kisuule yakuutidde Abasiraamu obutoonoona mulimu guno kuba kyenkana Gavumenti bokka be yagukwasa.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebweru, Hajji Abbey Kigozi Walusimbi yagambye nti mu bbanga eritali ly’ewala, bagenda kuddamu okutalaaga amawanga mu Buwalabu okuli Saudi Arabia, Kuwait, Qatar n’amalala okukyalira ku Bannayuganda abali mu makomera balabe embeera gye balimu.
Omumyuka w’omubaka wa Uganda e Saudi Arabia, Sheikh Sulaiman Guggwa yagambye nti mu kiseera kino Bannayuganda 9 be bavunaanibwa emisango gy’okukukusa enjaga era nga singa gubasinga ekibonerezo kya kuttibwa. Yagambye nti tebamanyi muwendo gwa Bannyuganda mujjuvu guli makomera.
Hajji Siraje Kiraalira, akola ku kitebe kya Uganda e Saudi yasabye kkampuni zonna ezitwala abantu ku Hijja ne Umra zikakibwe okubeera wansi w’ekibiina kya Uganda Bureau of Hajj Affairs kuba embeera ya buli asanze okutwala kibabeerera kizibu okubalondoola.
Ebibiina ebitwala abalamazi byasabye ebyokwerinda byongerwe okunywezebwa e Ntebe kuba kyewuunyisa nti abantu bayisaawo bye baagala ate ne bakwatibwa nga batuuse mu nsi endala. Engeri paasipooti z’eggwanga gye zigabibwamu nayo baasabye etereezebwe kuba bazirabye n’abantu bangi abatali bannansi.
Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikessi, Brig. Gen. Chris Ddamulira yasabye wabeewo okwongera okunyweza mu mateeka agafuga ebiragalalagala mu ggwanga kuba obuzibu buviira ddala wano mu ggwanga ng’ebitundu ebimu enjaga bagirima kyere