AKULIRA ekibiina ekigatta Abayindi mu Uganda, ekya Indian Association of Uganda, G.N. Mohana ategeezezza nti abaana 9 nga bonna Bannayuganda batwaliddwa e Buyindi ne balongoosebwa emitima era ne bawona bulungi.
AKULIRA ekibiina ekigatta Abayindi mu Uganda, ekya Indian Association of Uganda, G.N. Mohana ng'akwasa sipiika Tayebwa ekimuli
By Wilson Ssemmanda
Journalists @New Vision
Bino Mohana yabitegeezezza Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa, bwe baabadde bamukyaliddeko n'agamba nti bano 9 bali kitundu ku pulaani yaabwe ey'okulongoosa abantu 100 abalwadde b'omutima omu mwaka guno.
Yagambye nti okulongoosa kuno kuvujjirirwa abayindi ababeera mu Uganda era kitundu ku bijaguzo byabwe eby'okuweza emyaka 100 okuva lwe baatandika okubeera mu Uganda.
Mohana era yategeezezza Tayebwa nti bateekateeka okutuuza ttabamiruka olw'ebyobusuubuzi nga lwa kwetabwako bamusigansimbi okuva mu mawanga 54 aga Afrika n'abasuubuzi b'e Buyindi abaaliko mu Uganda okuva e Bungereza, e Canada n'abali e Buyindi.
“Ekigendererwa kyabwe kwe kwagala okusikiriza bamusigansimbi okujja e Uganda, okutunda eggwanga lyaffe eri ensi yonna n'okubalaga ebintu eby'enjawulo bye bayinza okusigamu ssente e Uganda,” Tahebwa bwe yagambye.