EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kung'aanya omusaayi mu ggwanga (Uganda Blood Transfusion services) kikunze abantu okunyiikira okugaba omusaayi naddala mu kiseera kino nga abaana b'amasomero basemberedde oluwummula lwa ttaamu eyookubiri.
Okusaba kuno kukoledwa omukungu okuva mukitongole ky'omusaayi Ahmed Bbumba ku mukolo Abayindi abawangaalira mu Uganda kwe baajaganyirizza emyaka 79 egy'obwetwaze gino nga giyindidde ku kitebe ekikulu ekya Buyindi mu ggwanga e Nakasero era nga ku mukolo guno batongozza kampeyini ey'okugaba omusaayi nga yaakumala guno gwonna omwezi ogw'omunaana n'ekiruubirirwa eky'okukunganya obungi bw'omusaayi liita 11,000.
Omubaka wa Buyindi muggwanga Shri Ajay Kumar ng'agaba omusaayi
Bategeezeza nti abaana b'amasomero be bakyasinze okugaba omusaayi oguyambako mu kutaasa obulamu bw'abantu mu malwaliro era nga kati balina obweraliikirivu nti nga bagenze mu luwummula kyandireetawo ebbula ly'omusaayi mu ggwanga.
Omubaka wa Buyindi mu Uganda, Shri Ajay Kumar ye yakulembeddemu okugaba omusaayi era ng'ono yatenderezza enkolagana eyeeyongera okukula kumpi buli lunaku wakati wa Uganda n'eggwanga lya Buyindi .
Abamu ku Bayindi abawangaalira mu Uganda bwe babadde beetabye ku mukolo ogw'okukuza ameefuga ag'omulundi ogw'e 79
Omukolo guno okusinga gwetabiddwaako Bayindi abawangaalira kuno nga bano beegattira mu kibiina kyabwe ekya Indian Association of Uganda.
Abayindi naddala abaana n'abakyala baayoleseza ebitone omwabadde okusanyusa abantu nga beebaza omutonzi olw'okubatuusa ku meefuga ag'omulundi ogw'e 79 .