Bya Procopios Lumu
Abatandisi b’amassomero ag’obwannanyini ab’egattira mu kibiina ki Proprietors of Private Educational Institutions’ Association in Uganda (PPEIAU) batandise okutema empenda okulaba nga bassaawo ekitta vvu oba ensawo enzibizi gyebagamba nti eno egenda kubayambako okuva mu bizibu naddala ebyo bye baafuna oluvannyuma lw’omuggalo ogwa Covid 19.
Mu nsisinkano eno bano basomeseddwa ku butya bwe basobola okukuuma amasomero gaabwe ne gawangaala emyaka mingi.
Bino bibadde mu lukung'aana olubadde ku Royal Suites e Bugoloobi nga luno lwetabiddwamu bannanyini massomero naddala ag’amaanyi wano mu ggwanga n’ekigendererwa ekyosala entotto ku butya bwe bayinza okusSaawo ekitta vvu kyebayise private education stabilization fund okusobola okwekulaakulanya n’okwerinda ebirijja n’okutumbula eby’enjigiriza mu Uganda.
Bano nga bakulembeddwamu direkita w’ekibiina kino Christopher Kiwanuka Kaweesa atutegeezezza nti nga bayita mu kiwayi ky’ekibiina kyabwe ki Pop Investments club batendekeddwa ku kungeri y’okutegekamu abakozi mu massomero gaabwe ng’akakodyo k’okukuuma amassomero gano emyaka emingi.
Ye Veronica Joy Maraka omutandisi w’amassomero ga Greenhill Academy atutegezezza nti emu ku nsonga emuleese kwekufuna okutendekebwa ku kungeri gy’asobola okubeezaawo amassomero ge nebwanaba avuddewo. Ono yatutegezezza nti yaze n’omwana era nga ono yasiimye enteekateeka eno ng’ayagala egende mu maaso kisobole okukuuma obugagga obw’ensibo emyaka gyonna olwo obugagga buleke kusaanaawo mu kaseera mpaawo kaaga.
Ow’ekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa oluvannyuma lw’olusirika luno ayogeddeko naffe era natutegeeza nti okutendeka aba’enganda enteekateeka nungi nnyo nga ono yaagambye nti mu butuufu kiswaaza naddala wano mu Buganda nti bannanyini bizinensi olufa nga nayo efa.
Mike Kironde nga ono ssentebe w’ekibiina ekitwala abatandisi b’amassomero mu ggwanga ayogedde ku kawefube gwe baliko okulaba nga basaawo ensawo enzibizi nga ono agambye nti bagenda kuyita muno okulaba nga bakyusa eby’enjigiriza mu ggwanga lino.
Kironde ayogedde ku mbeera ya covid 19 eyabaleka nga beeyaguza lujjo nga ono agambye nti tebaagala kudda mu mbeera eyo saako empuliziganya enungi mu bannanyini massomero.
Abalina Amasomero g'obwannannyini nga nga beegeyaamu
Dr Barbra Ofwono Buyondo omutandisi w’amassomero ga Victorious asiimye ensisinkano eno n’agamba nti okwegatta ge maanyi. Wabula ono asabye bannanyini masomero abatanegatta mu kibiina kino okwanguwa.
Dr. Peter Kimbowa omukugu mu bintu eby’enjawulo era eyebuuzibwako ensnga e’enjawulo atubuulidde by’asomesezza abantu bano, omuli okukuuma bizinensi zaabwe saako okusomesa ab’engana zaabwe okumanya obukulu bwa bizinensi zino emyaka n’ebisiibo.
Mu kino Kimbowa yatubuulidde nti ensonga enkulu mu musomo guno kwe kulaba nga bannanyini massomero bano bayingiza ab’enganda mu mulimu guno era babeere kitundu ku bizinensi eno.
Executive director w’ekibiina kino ki Proprietors of Private Educational Institutions’ Association in Uganda (PPEIAU atubuulidde olusirika luno lugenda kuyamba okutenda n’okubangula abatandisi b’amassomero mu nsonga nyingi omuli n’okukuuma obutonde bw’ensi yatu saako okuyamba bannanyini massomero bano okusobola okukendeeza ku nsimbi zebafulumya olwo basobole okugaggawala.
Olusirika luno lwetabyemu abatandisi b’amassomero agasinga obunene mu ggwanga abasoba mu 15