Bannamukadde batunudde ebikalu nga basingisibwa ogw'okwezza ettaka lya kitaabwe.

Baweereddwa engassi ya kakadde kamu buli omu.

Bannamukadde batunudde ebikalu nga basingisibwa ogw'okwezza ettaka lya kitaabwe.
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Ttaka #Amawulire #Kwezza

BANNAMUKADDE babiri nga baaluganda ne batabani baabwe babiri batunudde ebikalu mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ng’omulamuzi Adams Byarugaba abasingisa omusango gw’okukola ekirayiro ky’obulimba ne bezza ettaka lya kitaabwe ne jjajjaabwe.

Baweereddwa engassi ya kakadde kamu buli omu. Bano baabadde bavunaanibwa emisango esatu okubadde ogw’okwekobaana, okukola ekirayiro ky’obulimba n’okujingirira ebiwandiiko eby’enjawulo okwezza ettaka.

 

Jackson Kabanda Mukasa 71, William Kyobe Ssennyomo 75, bonna batuuze ku kyalo Nalubabwe e Buikwe, Samuel Kyakonye 44 w’e Buloba Nabukalu e Wakiso ne Mustafah Mukwaya 42, mutuuze wa Bulamu Zzooni e Gayaza mu Wakiso be basingisiddwa gino.

Mukasa nga August 13, 2015 e Mutundwe Lubaga, yalina eddaame lya kitaawe omugenzi Timoseewo Ssennyomo n’akola ekirayiro ky’obuyinza nti ye yekka omwana w’omugenzi Timoseewo Ssennyomo eyasigalawo n’ekigendererwa ky’okwezza ettaka era mu kkooti yategeeza nti kino yakikola kutaasa ebintu bya kitaabwe ebyali mu lusuubo.

Omusango omulala ogwabasse mu vvi gwakwekobaana, nga bonna abaana n’abalala abatannakwatibwa mu 2003 e Mutundwe beekobaana ne bakola ekirayiro ky’obulimba ekikontana n’amateeka agafuga ebirayiro mu Uganda.

Kyobe yakkiriza kino naye n’ategeeza nti abaana baamuwabya okubyenyigiramu nga tabimanyi. Wabula, abaana Kyakonye ne Mukwaya baabyegaana nti okusinziira omwaka ogwo tebasuubira kuba nga ebyali bigenda mu maaso baali babimanyi. Baabadde bakiikirirwa munnamateeka Steven Muhoozi.

Timothy Makumbi, eyalumirizza bano okutuuka okubakka mu vvi yategeeza kkooti nti, abamanyi era baganda be wabula yafuna amawulire okuva ewa muganda we Pascal Kyobe ali e Bungereza nti ettaka lya jjajja we omugenzi Ssennyomo plot 6 block 3 Kigagga zzooni e Mutundwe lyakutuddwamu bu poloti 10 n’asitukiramu okununula.

Bano baatuuka n’okujingirira ebbaluwa y’okufa kwa jjajaabwe nti yafa 1977 kyokka nga yafa 1958 ne bagenda mu maaso n’okuteematema ettaka.

Kkooti yakizudde nti ddala bano baalina ekkobaane okwezza ettaka lino omulamuzi n’abawa ekibonerezo wabula yabawabudde nti ensonga z’ettaka lya Ssennyomo bazimalire mu ffamire era n’abategeeza nti basobola okugenda mu kkooti y’engassi okusazaamu ebiwandiiko byonna ebyali bikoleddwa mu bukyamu.