Aba Transformet beetisse eza Katabi Boda Boda

sentebe wa LC 3 Katabi mu Ntebe, Ronald Kalema awabudde abakulira emizannyo mu FUFA, kiraabu n’amasaza okwettanira emizannyo egitegekebwa mu bitundu basobole okufuna abazannyi abalina talanta okuggumiza n’okulinnyisa omutindo gw’emizannyo mu ggwanga

Abawanguzi nga bkwasiddwa boda yaabwe
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Egya Boda Boda mu Katabi Subcounty:

Transformer 13(0) – 12(0) Bugiri

Ekyokusatu:

Kitala 3-2 Bwerenga

Obugaali:

Peter Kisitu – Kasenyi Stage

Ludo:

Musa Lukwago – Ssemuwemba Stage

Ssentebe wa LC 3 Katabi mu Ntebe, Ronald Kalema awabudde abakulira emizannyo mu FUFA, kiraabu n’amasaza okwettanira emizannyo egitegekebwa mu bitundu basobole okufuna abazannyi abalina talanta okuggumiza n’okulinnyisa omutindo gw’emizannyo mu ggwanga.

Yabadde ku fayino y’omupiira ogwetabiddwamu ttiimu za siteegi za Boda Boda 20 okuva mu Katabi Town Council ezimaze emyezi ebiri nga zivuganyiza mu bibinja bina.

Ttiimu bbiri ezaayisemu mu bibinja zeesozze kwota ne zigenda ku semi okutuuka ku fayinolo.

 Boda Boda

Boda Boda

Zaabadde mpaka za Basamulekkere – Ssekigozi Tournament ez’omulundi ogwokutaano nga Transformer yasitukidde mu kikopo omulundi ogusooka bwe yamezze Bugiri wakati w’abawagizi abaakwatiridde ekisaawe kya Nkumba Primary Kataka Ground ku Ssande.

Fayinolo yabaddeko vvaawo-mpitewo mu mupiira ogwaggwerede mu peneti.

Mu ddakiika 90 gwawedde 0-0 olwo ddiifiri Jamil Sejunga n’abatwala mu peneti ezaatadde abawagizi ku bunkenke.

Ku peneti eyasoose abawagizi beeyiye mu kisaawe okuzoota obuliro wabula ddiifiri n’asooka aziyimiriza okumala eddakiika nga ttaano ng’abawagiri balemeddemu n’abalala nga bwe bamucoomera.

Zaabaddemu katemba omulala nga buli ludda lwakyusizza ba ggoolo nga bawanyisiganya n’abasambi okukwata ate nga bwe baddamu.

Abawagizi ba Transformer baasoose okweyiwa mu kisaawe okujaganya ng’owa Bugiri alemeddwa okuteeba eye 13 nga tebamanyi nti n’owaabwe yabadde akyasigazzaayo peneti esalawo.

Kyatutte akaseera okubafulumya ate ne ne bakiddamu nga bateebye ne guggwa 13-12.

Abasambye fayinolo buli ttiimu yafunye pikipiki empya, emijoozi n’omupiira nga Transformer yakwasiddwa n’ekikopo.

Kitala ey’okusatu yasitukidde mu sseddume w’Ente ate ab’okuna aba Bwerenga ne bafuna embuzi n’emijozi.

Goal keeper ng'akutte ggoolo

Goal keeper ng'akutte ggoolo

Peter Kisitu owe Kasenyi ye yawangudde mu bugaali obwa kiromita 40 okuva e Nkumba okugenda ku kisaawe e Ntebe n’okudda nga baayitidde Bukwo ku ky’ettaka.

Ono yafunye akagaali k’empaka ate Musa Lulwago owa Ssemuwemba Stage n’awangula mu ludo.

Empaka zitegekebwa ssentebe wa Katabi LC3, Ronald Kalema Basamulekere wamu ne Steven Sekigozi.