BANNAMATEEKA abagundiivu 10 bataddeyo okusaba kwabwe mu kkooti ekola ku misango gya nnaggomola nga bagisaba ekkirize abantu baabwe Dr. Kiiza Besigye ne Hajj Obeid Lutale okweyimirirwa bawoze nga bava waka.
Okusaba baakutaddeyo ku Lwokuna nga basengese ensonga 8 kwe baakwesigamizza. Baagambye nti, Dr. Besigye ne Lutale batuuze abagundiivu mu bitundu gye babeera era bamanyiddwa obukulembeze bw’oku byalo era n’ebbaluwa baazitaddeko ezikakasa nti Dr. Besigye mutuuze mu zooni ya Buyinja e Kasangati ate Lutale wa zooni ya Kisigula e Mutundwe.
Baagambye nti ssinga beeyimirirwa, tebalina ngeri gye basobola kutaataaganya kunoonyereza ku musango era balina abantu ab’obuvunaanyizibwa abasobola okubakubiriza okudda mu kkooti okuwoza.
Mu byafaayo bya Dr. Besigye ne Lutale tebajeemerangako kkooti yonna era tebasingibwangako musango gwonna ku ddaala lya kkooti eyo n’endala.
Bombi balina abantu ab’obuvunaanyizibwa abanaabeeyimirira beetegese okutuukiriza obukwakkulizo bwa kkooti.
Bannamateeka abaataddeyo okusaba kuliko; Lukwago and Co. Advocates, AF Mpanga Advocates, Alaka and Co. Advocates, Nalukoola Advocates and Solicitors, Abdallah Kiwanuka Associated Advocates, Matsiko, Wanda and Arinda Advocates, Kiiza Mugisha and Co. Advocates, Kintu -Twinomugisha and Co. Advocates, Baraka Legal Associates advocates, Alinaitwe Peter and Co. Advocates, Datum Advocates, Tugume –Byensi and Co. Advocates ne Alto advocates.