BANK ya DFCU etongozza ekibiina kya Rotary ekituumiddwa Kampala Blue Hearts nga kino ky'akuyamba okutuusa obujjanjabi obw'enjawulo ku Bannayuganda mu bitundu eby'enjawulo.
Kino kitongozedwa ku mukolo ogubadde ku kitebbe kya bank eno e Nakasero mu Kampala nga gwetabidwako abakungu ab'enjawulo nga Xavier Ssentamu, Disitulikiti gavana eyawumula nga ono akkaatiriza obukulu bw'okuweereza n'obuntu,n'obwesimbu.
Mu nteekateka eno, bbanka ya dfcu ewaddeyo akawumbi k'ensimbi kamu okunyweza enteekateeka z’ebyobulamu mu Uganda yonna.
Aba Rotary nga bali n'abakungu ba Bank
Enteekateeka eno etunuulidde okuweereza abantu nga bayita mu nsisiira z’eby'obulamu ensisiira zino zitunulidwa okutusa eby'obulamu ebyenjawulo omuli okwebuuza okwa bulijjo, empeereza y’ebyobulamu mu bamaama n’abaana, okuwagira okugema, okwekebejja endwadde ezitasiigibwa nga puleesa ne sukaali, okukebera kookolo (amabeere, omumwa gwa nnabaana, n’enseke), okulabirira amaaso n’amannyo, okuteekateeka amaka, okukebera n’okubudaabuda akawuka ka siriimu, okubuulirira ku by’endya, n’ebirara
Charles M. Mudiwa, akulira bbanka ya dfcu mukwogerakwe agambye nti enteekateka eno etunuulidwa okyusa ebiseera bya bannyuganda eby'obulamu eby'omumaaso olubeerera
"dfcu emanyiddwa nnyo olw’obwagazi n’okwewaayo okukyusa ebitundu mu Uganda yonna. Kino kikwatagana bulungi n’okwolesebwa kwa Rotary, kwe kukyusa obulamu n’okusitula ebitundu nga tuyita mu buweereza obulung’amibwa ebitundu byaffe omusanvu bye tussaako essira, omuli okugaba Amazzi amayonjo, Obuyonjo, Okutaasa Bamaama n’Abaana, Okuwagira Ebyenfuna by’Ekitundu, okukuuma Obutonde, Okuwagira Ebyenjigiriza, n’Olwanyisa Endwadde"
Aba Rotary nga bagaba certificate
Ate ye Shem Naggenda, omuwabuzi wa Kiraabu mu kibiina kya Rotary Club of Kampala Blue Hearts, agambye nti,‘’Kiraabu eno ya njawulo, kuba ye kiraabu ya Rotary esoose okutandikibwawo mu bitongole Uganda.
"Mpulira nga ndi wa nkizo okukwasibwa obuvunaanyizibwa buno okulungamya n’okuwagira okukula kwayo.
Yagasseeko nti, ‘’Obukulembeze bwa bbanka ya dfcu butegedde omugaso omunene ennyo ogw’emirimu gya Rotary era ne basanga nga kya mugaso okukwatagana butereevu ne Rotary Uganda".