Amawulire

Baminisita battukizza eby’okuwandiisa bodaboda

BAMINISITA ba Kampala ne dayirekita wa KCCA balangiridde nti ebibadde biremesezza okubala n’okuwandiisa bodaboda okutandika bikoleddwaako kati buli eyeetegese atwaleyo ebiwandiiko bye bamukoleko.

Emmanuel Maani ng’alagirira owa bodaboda by’alina okujjuza. Baabadde ku ssomero lya St. Paul Primary e Kyebando mu munisipaali y’e Kawempe. Mu katono ye Minisita Minsa Kabanda. Kozesa App ya
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BAMINISITA ba Kampala ne dayirekita wa KCCA balangiridde nti ebibadde biremesezza okubala n’okuwandiisa bodaboda okutandika bikoleddwaako kati buli eyeetegese atwaleyo ebiwandiiko bye bamukoleko.
Omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Yinginiya Luyimbaazi Ssali yagambye nti ebikozesebwa ebibadde bibasibye okutandika okuli kompyuta, foomu, okutereeza
amasannyalaze mu bifo we bagenda okukolera babitaddewo. Minisita Minsa Kabanda, Kabuye Kyofatogabye omubeezi wa KCCA n’ababaka ba pulezidenti mu Kampala baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire eggulo ku ofi isi ya Katikkiro wa Uganda ne
bannyonnyola byonna.
Bagambye nti enteekateeka ebbiri ku bodaboda okuli ey’okutendeka n’okusomesa aba
bodaboda ssaako ey’okubala pikipiki n’okubawandiisa bonna zigenda mu maaso tewali eyimiridde.
Nti ku Mmande lwe baalangirira okutandika, ebikozesebwa byokka ku mulimu bye bibadde bisibye era byawedde. Minsa Kabanda yagambye nti buli wa bodaboda ateekwa
okugenda mu kifo kye baalanze ne bamuwandiika era abo abaawandiikibwa edda mu nkola eyalangirirwa eyali wansi wa ofi isi z’ababaka ba pulezidenti bateekwa okuddayo ne batereeza ebiwandiiko okukakasa nti bituukagana ne bye baasooka okuwaayo.
Kabanda yagambye nti balina enteekateeka nnene ku bodaboda okuzitereeza. Nti basookedde ku kusomesa n’okubatendeka, bagenda kubawandiisa n’okubabala bonna mu Kampala ate bakole ku ky’okutereeza siteegi. Kyofatogabye yagambye nti aba
bodaboda abaagala okutendekebwa bagende mu matendekero
gonna agalina ebisaanyizo bababangule wadde tebagenze mu UDSA. Ying. Luyimbaazi yategeezezza nti aba bodaboda abaafuna edda pamiti ezibakkiriza okuvuga pikipiki tebeetaaga kuddayo kusoma.
Ku bakulembeze ba bodaboda, abeemulugunya, minisita Kabanda yagambye nti enteekateeka eno si ya kulonda bakulembeze ba bodaboda era tebagenda kubategeeza
wadde okubeebuuzaako. Nti ekikolebwa kati eky’okutereeza bodaboda mu Kampala kyayisibwa mu 2019 olukiiko olw’oku ntikko oluvunaanyizibwa ku byokwerinda
era ekikolebwa kigwa mu byakwerinda.
Wabula abakulembeze ba bodaboda beemulugunyizza nti minisita ne KCCA okusalawo ku kuwandiisa nga tebakozesezza bakulembeze tebasobola kukikkiriza era bo tebagenda kubyetabamu.
Kanyike Kiviiri yategeezezza nti ofi isi za Gavumenti baaziwa dda enteekateeka yonna eteekeddwa okuyitibwamu okuwandiisa bodaboda kyokka bwe baba tebaagala
kugigoberera bo tebagenda kubigenderako. Ku butabaawo tteeka, Kabanda yagambye nti buvunaanyizibwa bwa KCCA okukola etteeka bo ne baliwagira naye ekiseera kino
ebbago aba KCCA tebannaba kulimuweereza kusobola kuliwagira alyongereyo

Tags: