Bino abyogeredde mu Palamenti olwaleero ku Lwokubiri nga September 7,2021, mu kanyomero Ababaka mwe boogerera ensonga enkulu mu ggwanga ezetaaga okukolako mu bwangu.
Balimwezo agambye nti bwe baalambudde awaagudde enjega ku Mmande ya wiiki eno, baakizudde ng’ekitundu ekyasigaddewo ku kizimbe kino kijjudde enyanfa, ng’essaawa yonna kiyinza okwerindiggula ku ttaka ne kyongera okutta abantu abalala.
N’agamba nti kiba kyetaaga okukimenya mu bwangu n’obukugu kireme kutta bantu balala.
Era asabye akakiiko akalondoola eby’okuzimba mu ggwanga aka National Building Review Board kaveeyo ne lipooti ze kazze kafulumya ku bizimbe ebizze bigwa ne bitta abantu, era bwe wabaawo ab’esuulirayo ogwa naggamba ne baviirako abantu okufa, bavunaanibwe.
Asabye ne Minisita wa Kampala okuvaayo annyonnyole Palamenti bye bali mu kkola okulaba ng’obubenje buno tebuddamu kubaawo mu biseera ebijja.
Bino we bijjidde nga ku Lwokuna lwa wiiki eno nga September, 9,2021, ekitongole kya KCCA kigenda kusisinkana Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti ak’ebyobuzimbi, kinnyonnyole ebivaako ebizimbe okugwa mu Kampala.
Minisita omubeezi ow’ebyenguudo Musa Ecweru asuubizza Sipiika Jacob Oulanyah nti mu nnaku bbiri gavumenti egenda kuleeta lipooti ekwata ku bizimbe ebizze bigwa, mu ggwanga egyanjulire Ababaka mu Palamenti ey’awamu.