Bategeezezza nti yadde embeera ya kanaayokyani olw'ebintu okulinnya ebbeeyi naye ate kintu kya nkizo nnyo omuntu okwewa emirembe munda ye olwo n'alyoka atetenkanya butya bw'asobola okuvvuunuka okusomoozebwa kw'alimu .
Okwogera bino basinzidde mu nsisinkano e Kampala nga beetegekera okukyaza omu ku bakulembeze baabwe mu nzikiriza, Gurudev Sri Sri Ravi Shankar asuubirwa okukyala mu Uganda okuva nga 23 omwezi guno.
Gurudev ye yatandikawo ekibiina kya 'Art of living' ekibunyisa enjiri ey'okukuuma emirembe n'okwewa emirembe .
Shamim Masembe, akola n'Abayindi annyonnyode nti ekimu ku bifudde Abayindi abantu abenkizo ennyo naddala mu nzirukanya y'emirimu gyabwe kwe kubeera nti bakkiriza , bamalirivu ate balina emirembe n'essuubi ery'olubeerera munda yaabwe ekintu ekitali nnyo mu Bannayuganda abasinga obungi .
Nga weeyambisa omubiri gwo okukola dduyiro, Masembe agamba osobolera ddala okubaako engeri gye weekakkanyaamu okweggyako situleesi aviiriddeko abantu abamu okutabuka emitwe olw'okubeeranga mu birowoozo ebitakoma.