Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina kino, Rao Mohan agambye nti ekibiina kino si ky’abayimbi bokka wabula Bannayuganda bonna n’asaba abantu okugenda babajjanjabe.
A . Ajay Kumar ye yagguddewo ekifo kino n’agamba nti ekizibu kya COVID 19 ky’amaanyi era ebyeetagisa bingi okusobola okulwanyisa ekirwadde kino ng’ate ebintu bya ssente nnyingi.
Ono agambye nti Indian Association ekoze kirungi okuteekawo ekifo kino nga mu kiseera kino lisobola okukola ku bantu 27.
Mmeeya w’e Nakawa, Paul Mugambe agambye nti Indian Association of Uganda ekoze ekintu kirungi nnyo era nga bagenda kutaasa abantu bangi abatawaanyizibwa ekirwadde kya Covid 19.
Asembyeyo nga akuba omulanga eli abalina obusoboozi okubakwatirako nga abe Nakawa basobole okukeberebwa , okubagulira Mask ne Sanitizer kubanga abantu tebalina nsimbi .