Abantu 1,500 bajjanjabiddwa mu lusiisira lw’ebyobulamu e Jinja

Ebibiina by’Abayindi mu Jinja okuli ekya MMP Group n’ekya Indian Association of Uganda bategese olusiisira lw’ebyobulamu mwe bakeberedde abantu endwadde ez’enjawulo nga kookolo, endwadde z’omutima, puleesa, sukaali n’endala.

Minisita omubeezi ow'ebyobulamu Anifa Kawooya (ayimiridde wakati) ng’ alambula ku bantu ababadde bagaba omusaayi e Jinja ku Lwokubiri.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#abantu #bajjanjabiddwa #Jinja

Bya Donald Kiirya

Ebibiina by’Abayindi mu Jinja okuli ekya MMP Group n’ekya Indian Association of Uganda bategese olusiisira lw’ebyobulamu mwe bakeberedde abantu endwadde ez’enjawulo nga kookolo, endwadde z’omutima, puleesa, sukaali n’endala.

Olusiisira luno olwamaze ennaku bbiri lwabadde ku SSDM Temple ku luguudo lwa Bell Avenue mu kibuga Jinja. Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Anifa Kawooya ye yaluguddewo era abantu bangi abaafubye obujjanjabi. 

Minisita Kawooya yennyamidde olw’omuwendo gw’abasajja abeekebeza kookolo naddala Prostate okubeera omutono n’abakubirizza okuvaayo babakebere ng’embeera tennaba kusajjuka n’okufuna obujjanjabi. 

Abakozi B'eddwaaliro Lya Nile International Hospital Nga Bagabira Abalwadde.

Abakozi B'eddwaaliro Lya Nile International Hospital Nga Bagabira Abalwadde.

Kawooya yategeezezza nti gavumenti ey’awakati ng’eyita mu Minisitule y’ebyobulamu egenda kwongera okugaba eddagala mu malwaliro gaayo ag’ebitundu,  aga disitulikiti n’agali ku maggombolola mu kaweefube w’okutumbula ebyobulamu mu ggwanga.

Yasiimye aba MMP Group, GM Sugar Ltd n’aba Indian Association okutegeka olusiisira luno olwenjawulo olwasobozesa abantu ab’awansi abatalina mwasirizzi okujjanjabwa.

Piyush Kotecha, dayirekita wa Sunsilk Hardware yategeezezza nti baleese abasawo bataano okuva mu ddwaaliro lya Kothiya Hospital and Research Centre okuva mu Buyindi okujja okujjanjaba abantu n’okubakebera endwadde ez’enjawulo.