ABASAJJA babiri abagambibwa okufera Namwandu obukadde 797 ne beebika nti baafa basimbiddwa mu kkooti okubitebya.
George William Byamukama 55, yakuguka mu by’enfuna by’obulimi, mutuuze w’e Mutundwe mu Lubaga ne Ronald Kazibwe 34, omutuuze w’e Busaabala Makindye be bagasimbaganye n’akulira kkooti ya Mwanga II e Mengo Doreen Ajuna abasomedde emisango ebiri okubadde ogw’ekokwekobaana n’okufera era n’abasindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga March 27, 2025.
Kigambibwa nti, wakati wa August 15, 2021 ne August 2024, mu bitundu by’e Lubaga, n’ekigendererwa ky’okufera, baafuna obukadde 797,450,000 okuva ku Rita Bangi nga bamulimbye nti bagenda kuziteeka mu pulojekiti y’emmwanyi, okusasula ssente z’eddwaliro, okusimbuliza ensigo, ebisale by’okuziika Kazibwe n’abalala, ebisale by’entambula okuva e Juba okutuuka e Dar-es-salam n’ensimbi endala. Guli ku ffayiro CRB; 2665/2024.
Bangi Namwandu, eyali abeera e Busaabala kati abeera Gomba oluvannyuma lw’okuferebwa, alumirizza Byamukama eyaliko akulira ekibiina omwegattira abali mu bizinensi y’emmwaanyi ekya Uganda Coffee Federation kyokka nga ye yasooka kumumanya ng’ali mu kitongole kya Development Management Consultants International ekitakyaliwo kati.
Yategeezezza nti nga wayiseewo akaseera ng’ekitongole kino kiggaddwawo nga August 15, 2021, yamukubira essimu ng’amusaasira olw’okufiirwa bba era n’amusomeramu nga bw’alina Pulojekiti y’emmwanyi gy’ayagala okutandika naye talinaawo ssente n’amusaba okumuwola akakadde kamu n’ekitundu.
Olw’okuba yali yakolako naye ate nga ne bwe yamwewolangako yamusasulanga, kyamubeerera kyangu okuzimuwa nga teyeesiseemu ng’alina essuubi ly’okuzimuddiza awatali kusika mugwa wabula oluvannyuma ky’ataakola n’amutambuza kumpi bwoya kumuggwa ku ntumbwe!
Nga n’amaziga akulukusa, Bangi agamba nti yali tasuubira omuntu eyali mukama we kutuuka ku mufera mu ngeri bw’etyo kuba y’omu ku baamuyigiriza emirimu nga yaakava ku Yunivasite.
Oluvannyuma ng’ajja amuwola ssente nga tamuddiza, ate mbu yatandika obukodyo obupya. Yabiyingizaamu gwe yayita mutabani we Kazibwe eyamukubira essimu nti, kitaawe, nnyina amuwadde obutwa addusiddwa mu ddwaliro e Kiruddu.
Yafuna okutya omuntu gw’abanja ssente ennyingi zityo ate okufa nga tamusasudde kwe kusalawo era okwekubaakuba ng’omukazi akutaasa Byamukama obutafa nazo.
Eno baamugamba nti okumunuunamu obutwa beetaaga obukadde bubiri buli lunaku naye kye yakola okumutaasa.
Mu kumumatiza yamugamba nti, alina ssente nnyingi mu bbanka naye mukazi we yagamba aba Bbanka nti yatabuka omutwe takyasobola kuzimuwa n’amwegayirira okumuyamba nti zonna waakuzimuwa mulundi gumu ng’awonye.
Bangi agamba yeewola mu bantu okutaasa eyali mukama we. Oluvannyuma Byamukama yamugamba nti kati afunye omulimu e Tanzania era baakumusasulanga obukadde 45 buli mwezi nga waakumuwanga obukadde 25 ku z’amubanja buli mwezi okutuusa nga ziweddeyo kye yasanyukira.
Yannimbanako nti abadde agenda okukima ssente mu bbanka ne bamukwata kyokka n’okumununula mu kkomera gye baamusibira waagendayo obukadde munaana. Bangi bw’anyumya.
Nga wayiseewo akaseera katono, ate waliwo omuntu omulala eyamukubira essimu nti Byamukama abadde mu ofiisi e Tanzania n’azirika nti alina obuzibu bw’ensigo. Yategeezezza nti mu ddwaliro yamalayo emyezi munaana wabula emyezi egyasooka ebiri ng’akozesa obukadde busatu buli lunaku okumunuunamu obutwa nga y’atoola ssente.
Era yamwegayirira nti ate balina okumulongoosa bamusondere ku ssente olwo nga mutabani we Kazibwe y’abikwasaganya.
Kazibwe yamutegeeza nga bw’agenda okuwa kitaawe ensigo olw’okuba balina omusaayi ogufaanagana n’awaayo obukadde 180 ez’okusimbuliza ensigo era n’amusasulira ebisale by’entambula okugenda e Tanzania okugimuggyamu agiwe mukama we.
Oluvannyuma lw’okulongoosebwa, Byamukama yatandikirawo okwogera eyali yazirika edda Kazibwe ye yamala ennaku ssatu nga tannadda ngulu.
Waliwo omusawo mbu eyali akola ku bano e Tanzania gye baali ayitibwa Martin Kavembe n’abategeeza nti, ate Byamukama agudde mu kinaabiro avaamu omusaayi ayagalayo obukadde busatu okumujjanjaba.
Nga July 4, 2024, Dr. Kavembe yamubikira essimu nti Kazibwe eyagaba ensigo afudde ate Byamukama gwe baagiwa agudde eddalu era abulidde mu bizinga by’e Zanzibar Tanzania olwo naye n’atandika okumuggyamu ssente.
Yamugamba nti kyetaagisa akakadde kamu n’emitwalo 40 buli lunaku okunona Byamukama eyali abuze olw’okugwa eddalu kubanga ye yali asobola okuziika mutabani we afudde era n’atandika okuzimusoloozaamu.
Ono yabasaba ssente z’okugula ssanduuko y’okumuziika mu Limbo e Tanzania ze yawaayo ne baziika Kazibwe.
Olwakimanya nti Byamukama agudde eddalu era abuze ate nga ne Kazibwe afudde, yakkiriza nti kati akomye waakutandika buggya. Bangi agamba nti yagezaako n’okulinnya eryato okugenda e Zanzibar naye mpaawo kye yafuna.
Wano yali amaze okwetundako buli kintu n’okwewola n’emmotoka gye yali atambuliramu ng’erugenze.
Agamba nti bino byonna byakolebwanga bakozesa amasimu ga Byamukama ne Kazibwe.
Bangi agamba nti lumu yakubirako gwe baali bakola naye eyamutegeeza nti Byamukama gyali era anyumya naye wano mu Uganda.
Oluvannyuma lw’okukitegeera nti weebali e Uganda, yakuba ku ssimu ya Kazibwe omukazi n’agikwata ng’aleekaanira waggulu nti ‘omwana wange yafa taliiko na malaalo oba omanyi gy’ali mbuulira’.
Yaddukira ku Poliisi ya Kampalamukadde gye yafuna abaamuyamba okukwata bano kyokka nga bakwatiddwa, baagezaako okuteesa okumuwa ettaka e Rukingiri yiika 57 yeesasule naye baakizuula nti yalinako 13 zokka ate nga nazo zirina enkaayana mu kkooti. Bangi yasabye okuyambibwa okuddizibwa ssente ze n’awanjagira Maama Nabbanja Katikkiro naye okumuyamba kuba waali awulira akomye