KCCA yaakuvaana abalinnya mu muddo gw'ezzeemu okusimba

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne baddamu okusimba omuddo wakati wa Mini Price ne Qualicel ne kirabula okusiba abantu naddala abatembeeyi abatera okutundirawo eby’amaguzi byabwe nti baakusibwa.

KCCA yaakuvaana abalinnya mu muddo gw'ezzeemu okusimba
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Amawulire #KCCA #Mutaasa Kafeero ne ku Qualicell

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne baddamu okusimba omuddo wakati wa Mini Price ne Qualicel ne kirabula okusiba abantu naddala abatembeeyi abatera okutundirawo eby’amaguzi byabwe nti baakusibwa.

Bano leero bakedde ku n’enkumbi ne baddamu okukabala n’okusiba olukomera we bagenda okuddamu okusimba omuddo n’ekigendererwa okulaba nga bagobawo abatembeeyi n’abantu ababadde batambulirawo.

Omuserikale Wa KCCA Ng'asimba Omuddo Omupya.

Omuserikale Wa KCCA Ng'asimba Omuddo Omupya.

David Ojur eyakulembeddemu abaserikale yagambye nti wakati w’ekizimbe kya Mutaasa Kafeero ne ku Qualicell waliwo abatembeeyi abagufudde omuze okutundirawo ebintu nga babbamu babadde batundira mu bifo ebirina okubaamu omuddo nga kati bazzeemu okugusimba nga enteekateeka y’ekibuga bw’eri ey’okusimba omuddo n’emiti.

Yagambye nti nga omuddo bamaze okugusimba, omuntu yenna anaakwatibwa ng’agulinnyeemu oba ng’agutuddemu waakukwatibwa, atwalibwe mu kkooti avunaanibwe kuba abatembeeyi balagirwa okugenda mu butale gye baba bakolera kyokka waliwo abaagaana ne basigala ku nguudo n’ebifo ebitakkirizibwa.

Yagasseeko nti era waliwo n’abantu abasula ku nguudo wamu n’abamala gafuka buli we basanze nabo baakukwatibwa olw’okucafuwaza ekibuga ssaako abamansa kasasiro.

Yagambye nti ebitundu ebirala ebyasimbibwamu omuddo guzzeemu okukula oluvannyuma lw’abaserikale ba KCCA okukwasissa amateeka omuli okukwata abagulinnyamu  wamu n’okukwata ebisolo ebitaayaaya.