Akulira Vision Group asabye abantu okuzza obuggya densite zaabwe

"Tekinologiya akozesebwa ekitongole kya NIRA wamulembe nnyo kubanga mu ddakiika 2, zokka omuntu baba bamaze okumukolako, n’agenda ku kirimu gye."

Akulira Vision Group asabye abantu okuzza obuggya densite zaabwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Don Wanyama #Densite #Kuzza buggya #Bantu #Vision Group #Kusaba

AKULIRA kkampuni ya Vision Group Don Wanyama, akubirizza abantu okwenyigira mu kuzza obuggya densite zaabwe ez’eggwanga.

Wanyama okwogera bino abadde yeetabye mu kuzza obuggya densite ye ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area.

Lorraine Tukahirwa Akulira Bakitunzi Ba Vision Group Ng'awandiisa Okuzza Obuggya Densite Ye.

Lorraine Tukahirwa Akulira Bakitunzi Ba Vision Group Ng'awandiisa Okuzza Obuggya Densite Ye.

Ategeezezza nti tekinologiya akozesebwa ekitongole kya NIRA wamulembe nnyo kubanga mu ddakiika 2, zokka omuntu baba bamaze okumukolako, n’agenda ku kirimu gye.

Agambye nti Bannayuganda bandibadde tebagayaala mu nteekateeka eno kubanga endagamuntu yetaagisa nnyo eri buli muntu.

Don ng'azza obuggya endaga muntu ye

Don ng'azza obuggya endaga muntu ye

Wanyama asiimye ekitongole kya NIRA olw’okusembebeza enteekateeka eno ku kitebe kya Vision Group era ne yeeyama nti kkampuni yaakwongera okunyweza enkolagana ne NIRA.