Amawulire

Ba Tiktoker bacamudde abantu ku Labonita

ABA Tiktok bakikubye mu kivulu kyabwe ekya Tuli Bulala emiryango ne bagigaala ne bagoba abadigize.

Aba Tik Tok nga basanyusa abantu ku Theatre Labonita
By: Kamya Ignatius, Journalists @New Vision

ABA Tiktok bakikubye mu kivulu kyabwe ekya Tuli Bulala emiryango ne bagigaala ne bagoba abadigize.

Omanyi bano eb’egattira mu kibiina kya Tuli Bulala family ku lw’okutaano babadde ku Theater Labonita eyabooze nga zagenze okuwera ssaawa 2:00 ez’ekiro ng’emiryango gigaddwa olw’omujjuzo ogwabadde munda.

Abadigize nga bali ku labonita

Abadigize nga bali ku labonita

Abamu ku badigize amanyi obulungi Labonita bagezezaako okukozesa omulyango gwe mabega okuyingira kyokka nga nayo tebakirizidwa kuyitayo era embeera bweyabadde etabuse nga abamu ku badigize baagala okuyingira n’ekifuba Poliisi yayingiddewo ne bagoba okuva ku miryango ng’eyambibwako ba kanyama.

Tiktok

Tiktok

 

Bakira buli Tik toker omuganzi alinnya ku siteegi ng’eno enduulu ey’olulekereke ekubwa mu Labonita ng’eno bwebayimba erinnya lye nga n’abamu bawuliddwako nga babageegenya.

Bano nga bakulembedwa Jose Chakala (Land Lord), CB Talker ne Patricia Sitya Loss bazanyidde abadigize ebimu ku byebakola ku TikTok nga babigasemu ebirungo okukakasa nti abawagizi baabwe baddayo nga banyumidwa.

 

Tags: