Ateekerateekeera minisitule y'ebyobulamu Diana Atwine ayagala baweebwe ensimbi za ‘soola’ okuteekebwa mu malwaliro

AKULIRA okuteekeratekeera minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine ayagala baweebwe ensimbi ez’okubunyisa amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba (solar energy) mu malwaliro kiyambeko mu kukakkanya ebisale ebingi kw'ossa n’amasannyalaze agavavaako ekisannyalaza emirimu.

Dr. Diana Atwine nga annyonnyola .jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Diana Atwine #soola #mamwaliro

Bya  Edith Namayanja

AKULIRA okuteekeratekeera minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine ayagala baweebwe ensimbi ez’okubunyisa amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba (solar energy) mu malwaliro kiyambeko mu kukakkanya ebisale ebingi kw'ossa n’amasannyalaze agavavaako ekisannyalaza emirimu.

Okusinziira ku minisitule y’amasannyalaze, ebitongole bya gavumenti bibanjibwa obuwumbi obuli eyo mu 100 ez’amasannyalaze, ng'amalwaliro amanene ana (4 referral hospitals) gabanjibwa obuwumbi 7 n’obukadde 39  okutuuka ku mwezi oguwedde.

Ssentebe W'akakiiko Ka Palamenti Akalondoola Ebyobulamu Charles Ayume Ku Kkono Ng'akubiriza Akakiiko

Ssentebe W'akakiiko Ka Palamenti Akalondoola Ebyobulamu Charles Ayume Ku Kkono Ng'akubiriza Akakiiko

Atwine ategeezezza ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ebyobulamu akakubirizibwa omubaka wa munisipaali y’e Koboko, Charles Ayume nti ne looni gye baafuna mu World Bank tebayamba kumalayo bisale ate nga beetaaga amasannyalaze okubeerako buli kaseera okutaasa obulamu bw’abalwadde.

Grace Tusiime nga muteesiteesi mu minisitule y’ebyamasannyalaze agambye nti engeri yokka gye bayinza okusalira ensasula y’amasannyalaze amagezi kwe kuwa amalwaliro  mita ze balina okusasula nga tebannakozesa masannyalaze kubanga nabo emirimu giba gizingama ng'amabanja tegasasulwa.

Ying.Abdon Atwine agambye ekirowoozo kya solar kirungi nnyo wabula nga amalwaliro agamu nga Kawempe, tegalina bifo wakuteeka byuma biyambako kuteekayo zi solar zino.