WASHINGTON, America
AMERICA kigitwalidde kumpi omwaka mulamba okusalawo okukkiriza ennyonyi yaayo ennwaanyi mutasubwa ey’ekika kya F-16, okweyambisibwa mu lutalo lwa Ukraine ne Rusiia Kino kibadde tekibangawo, Amerika okugaba ku nnyonyi zino ezoogerwako ng’ezisinga okuba ez’obulabe mu byentalo, ng’okuva lwe baatandika okuzikola, Amerika ebadde temala gaziggyayo era n’ensi za Bulaaya ezigiguzeeko zigigula buwanana ate era nga baziwaako obukwakkulizo.
Wabula mu wiiki eno, Pulezidenti wa Ukraine, Volodomyr Zelenskyy kye yayagaliza embazzi, kibuyaga yasudde, oluvannyuma lwa Pulezidenti wa America, Joe Biden okukkiriza okuwa Ukraine ennyonyi zino n’akkiriza n’ensi za Bulaaya oy’omu Bugwanjuba okuwaayo ennyonyi zino.
Biden teyakomye okwo yalagidde ekitongole kya Amerika ekitendeka okubonga ennyonyi zino okutandika okutendeka abavuzi b’ennyonyi ab’e Ukraine bagende okuzibakwasa nga bamanyi okuzikozesa.
Kino kyayaniriziddwa nnyo amawanga ga Bulaaya bulijjo agalinze ekiragiro kya America ekiriwo ng’akakwakkulizo nti ng’onookozesa ennyonyi ezo ezaabaguzibwa America erina kumala kukuwa lukusa. Mu bano mwabaddemu amawanga nga Bungereza (UK), Budaaki (Netherlands), Belgium ne Denmark.
Ku Lwokutaano, Katikkiro wa Bungereza, Rishi Sunak yayise ku mukutu gwe ogwa Twitter n’awa obweyamo nti UK ya kukolera wamu ne America wamu n’amawanga amalala okusobozesa Ukraine okwerwanako ng’ekozesaobwengula bwayo okukuba abo abaagirumba, n’addamu okukiggumiza nti baakuyimirira ne Ukraine okutuusa ku nkomerero.
“Mbategeeza nti bannansi ba Ukraine tulina eddembe lyaffe naye Putin ayagala kulituggyako, tusaba mutuwe ebiwaawaatiro (ennyonyi), tulirwanirire.” Ebyo bye bibaddenga ebigambo bya Pulezidenti wa Ukraine Zelenskyy buli lw’asisinkanye abakulembeze ba Bulaaya ne America ng’abasaba okumuwa ennyonyi.
Oluvannyuma lwa Biden okulangirira bino, America yakubye enkambi mu ggwanga lya Poland eriri ku muliraano gwa Ukraine okutendeka abavuzi b’ennyonyi so nga n’amawanga amalala galaze enteekateeka okutendeka ba payirooti bano.
Akulira ekitongole ky’ennyonyi ekya America, Frank Kendall yategeezezza bannamawulire wiiki eno nti, baatandise okutendeka bapayirooti kyokka waliwo abatonotono be babadde baatwala edda mu Pentagon ne babatendeka nga bo banaatera okumaliriza okutendekebwa.