Amawulire

Ekyabadde e Kaliro nga Sipiika Among awenjeza Pulezidenti Museveni akalulu!

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri, Anita Annet Among bwagenze okutuuka olwokusatu ng’awenjeza mukama we pulezidenti Museveni akalulu mu bitundu by’e Busoga.

Ekyabadde e Kaliro nga Sipiika Among awenjeza Pulezidenti Museveni akalulu!
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri, Anita Annet Among bwagenze okutuuka olwokusatu ng’awenjeza mukama we pulezidenti Museveni akalulu mu bitundu by’e Busoga.

Omubaka Brenda Namukuta ng'amenyeka omubbali

Omubaka Brenda Namukuta ng'amenyeka omubbali

Amakanda kw’olwo yagasimbye Kaliro, gyategeerezza abeeno ng’etteeka lye bakoze ku sukaali bwe ligenda okubayamba okulung’amya ebbeeyi y’ebikajjo bye balima.

Among bw’abadde ayogerako eri abantu b’e Namwiwa mu Bulamogi County mu disitulikiti y’e Kaliro, ategeezezza abali mu kulima ebikajjo nti ensonga yaabwe baagikolako dda nga n’olwekyo tebasaanye kuva ku birime kubanga ebbeeyi yaabyo egenda kuddamu okulinnya akadde konna.

Sipiika Among nga yeegatiddwako ababaka e Kaliro

Sipiika Among nga yeegatiddwako ababaka e Kaliro

Yasbaye abeeno okwaniriza pulezidenti Museveni mu bungi omwezi ogujja kubanga agenda kubongera amalwaliro, enguudo wamu n’amasomero nga n’amasanyalaze baakwongera ogabunya kubanga kati gavumenti yezza kkampuni yaago.

Omubaka omukyala ow’e Kaliro, Brenda Namukuta yategeezezza abantu be nti sipiika k’atuuse e Kaliro ebizibu byabwe byonna waakubituusa ewa Museveni bikolekwo n’abasaba okumwongera ekisanja .

Abawagizi ng'essanyu libula okubatta

Abawagizi ng'essanyu libula okubatta

Omubaka w’e Bulamogi Sanon Bwiire naye yakunze abantu okuyiira Mzei akalulu bw’anasiima abawe baminisita mu kabinenti eddako.

Tags:
Amawulire
Kaliro
Sipiika
Kuwenja
Pulezidenti Museveni