Abadde omwogezi wa Poliisi mu Busoga East awumudde emirimiu gya Poliisi

Olwo, abadde omwogezi wa poliisi mu Busoga North ASP Micheal Kasadha n'adda mu kifo kye nga kati y'ayogerera poliisi mu Busoga East.

Abadde omwogezi wa Poliisi mu Busoga East awumudde emirimiu gya Poliisi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Poliisi #Mirimu #Mwogezi #Busoga

ABADDE omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kafayo, awummudde emirimu gya poliisi.

Olwo, abadde omwogezi wa poliisi mu Busoga North ASP Micheal Kasadha n'adda mu kifo kye nga kati y'ayogerera poliisi mu Busoga East.

Ekitundu kya Busoga North, kizingiramu disitulikiti okuli Kamuli, Kaliro, Buyende ne Luuka era nga mu kiseera kino SSP Samson Lubega y'alondeddwa okuba omwogezi wa poliisi ow'ekitundu ekyo.

Ate yo Busoga East ekoleddwa disitulikiti okuli , Namutumba, Bugweri ,  Bugiri , Iganga, Mayuge ne Namayingo nga kati Kasadha y'aliyo.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti enkyukakyuka zino, zitandikiddewo.