Amawulire

Amagye gongedde okugumya Abakaramojja

Aduumira ekibinja kya UPDF eky'okusatu, Maj. Gen.Don Nabasa asabye Abakaramojja okukolaganira awamu n'Abakarachuna, babayambeko mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu bitundu byabwe.

Amagye gongedde okugumya Abakaramojja
By: Stuart Yiga, Journalists @New Vision

Aduumira ekibinja kya UPDF eky'okusatu, Maj.Gen.Don Nabasa asabye Abakaramojja okukolaganira awamu n'Abakarachuna, babayambeko mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu bitundu byabwe.

Asinzidde mu lukiiko olutudde ku kyalo Kaithin ekisangibwa mu ggombolola y'e Loputuk mu disitulikiti y'e Moroto.

Asabye abakulembeze okuyamba ku UPDF okumalawo obusosoze mu mawanga okuli mu kitundu kino ky'agamba nti kikoze kinene okuzing'amya enkulaakulana mu Karamoja.

Abamu Ku Bakaramoja Nga Bagoberera Ebigenda Mu Maaso mu lukiiko

Abamu Ku Bakaramoja Nga Bagoberera Ebigenda Mu Maaso mu lukiiko

Ategeezezza nti okuyimirirawo ku bugabirizi okuva mu gavumenti n'ebitongole by'obwannakyewa tekimala kutwala Karamoja mu maaso, bw'atyo n'abasaba okukwatira awamu okulaba nga nabo babaako emirimu gye batandikawo basobole okweyimirizaawo.

Francis Chemusto, aduumira Poliisi mu bitundu by'e Moroto akubirizza Abakaramojja obutasaalimbira mu kifo wabeera wazziddwa omusango kubanga kiba kitataaganya okunoonyereza kwabwe naddala nga bakozesa embwa ezikonga olusu.

Awadde eky'okulabirako eky'Embuzi 25, ze baazuula gye buvuddeko ezaali zibbiddwa ku kyalo Katanga, nga beeyambisa embwa za Poliisi.

Tags: