BANNAYUGANDA ababeera mu Amerika batandise okutuula obufoofofo, oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump, okubateekako omusolo gwa bitundu bitaano ku buli kikumi, ku ssente ze baweereza mu Uganda.
Bannakibiina kya Republican, Pulezidenti Trump, mw’ava basuubirwa okuyisa ebbago ly’etteeka nga May, 26, 2025, oluvannyuma liryoke lyongerweyo mu lukiiko lw’oku ntikko olwa Senate, eno bwe liyita, nga liteekebwako omukono mu butongole nga July 4.
Trump bw'afaanana.
Uganda yaakufiirwa obuwumbi 262
Lipoota ya minisitule y’ebyensimbi, ebyenfuna n’okuteekerateekera eggwanga eraga nti mu mwaka 2023, gwokka, Uganda yayingiza akawumbi ka ddoola kamu mu obukadde 400, okuva mu Bannayuganda ababeerayo nga mu za wano, bwe buwumbi 5,120.
Kyokka olw’omusolo Trump gw’ataddewo kiba kiraga nti, Uganda, egenda kufiirwa obuwumbi 262 so nga Kenya ebadde ayingiza obuwumbi 17 eza ddoola, yaakufiirwa obuwumbi 480 eza Kenya oluvannyuma lw’emisolo.
Emisolo gino gyakukung'aanyizibwa okuva ku bannanyini mikutu oba kkampuni Bannayuganda mwe bayita okuweeraza ssente okusobola okutuuka ku bantu baabwe.
Emisolo gino gyakubaggyibwako mu bitundu, oluvannyuma ziweerezebwa butereevu mu ggwanika lya Amerika.
Okugeza, ssinga Munnayuganda asindikira owa ffamire obukadde busatu mu emitwalo 65 (ze ddoola 1000), azisindise aggyibwako omusolo gwa 182,588/- nga za buwaze.
Trump, agamba nti eno y’emu ku nkola, Amerika mw’egenda okuggya ssente ezinaayamba okumyumyula ebyokwerinda ku nsalo zaayo n’amawanga amalala, n’okuyamba ku bannansi ababadde babigikibwa emisolo emingi, batandike okukendeezaako.
Bannayuganda Bankubakyeyo Mu Lukiiko Lwabwe Olwatuula Omwaka Oguwedde.
Kino kitegeeza nti ffamire ezibadde ziyimiriddewo ku ssente ezibaweerezebwa ab’enganda zaabwe ababeera mu Amerika, okukola ku mirimu egy’enjawulo okugeza ng’okusasula ebisale by’essomero, oba okuyambako ku bwetaavu bw’awaka obw’enjawulo, zigenda kwesalako, bannabyunfuna kye bagamba nti kyolekedde okukosa eby’enfuna by’eggwanga.
Kino kijjidde mu kiseera nga Paalamenti eri mu nteekateeka ya kuyisa mbalirira y’eggwanga (bajeti) kyokka nga ssente eziweerezebwa Bannayuganda okuva emitala w’amayanja, ze zimu ku ezo eggwanga kwe lisibidde olukoba.
Henry Mutyaba Katamba, omu ku Bannayuganda ababeera mu Amerika yategeezezza Bukedde, nti omusolo ogw’ebitundu ebitaano ku buli 100, ssente nnyingi nnyo, kyokka n’ategeeza nti Trump si y’asembayo ku nsonga eno, balinze olukiiko lwa House of Congress, okuwulira ekinaavaayo.
Peace Kasozi, agamba nti buli kintu kye bagula mu Amerika bakisasulira ebitundu 6 ku buli 100, kitegeeza nti emisolo ku luno gya kubatta. Wabula yategeezezza nti wadde gibazitoowereramu, basanyufu kuba gavumenti by’ekolamu birabika.
Agnes Kirabo, omu ku Bannayuganda ababeera mu Amerika yategeezezza Bukedde, nti; Si kya bwenkanya kuba ssente tugenda okuzifuna nga bazitemyeko omusolo gwa bitundu 18 ku buli kikumi nga n’ebintu bye tugula, kubaako omusolo. Embeera si nnyangu wadde nga ssente zo tuzifuna mu bungi.