Mbega wa CMI atwaliddwa mu kkooti lwa kutta muntu

FAMIRE etutte mbega w’ekitongole ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence CMI mu kkooti lwakukuba mutabani waabwe amasasi n'amutta

Mbega wa CMI atwaliddwa mu kkooti lwa kutta muntu
By Margret Zalwango
Journalists @New Vision
FAMIRE etutte mbega w’ekitongole ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence CMI mu kkooti lwakukuba mutabani waabwe amasasi n'amutta
 
Eremigio Masagazi Mwesigwa ne mukyala we Annet Naggayi abatuuze b’e Kiwumu Kalambi e Buloba mu distukiti y’e Wakiso beebatutte mbega wa CMI Capt Frank Nyakairu mu kkooti nga baagala abaliyirire obukadde 500 olwokutta mutabani waabwe Ivan Ssentongo.
 
Mu mpaaba gyebatadde mu kkooti enkulu e Wakiso abafumbo bano balumiriza Capt Frank Nyakairu, omujaasi Private Simon Olopot ne ssabawolereza wa gavumenti nga babalanga kutta Ssentongo mu ngeri emenya amateeka.
 
Masagazi ayise mu bannamateeka be aba Chapter Four Uganda n'agamba nti na January 21,2025 yawulira amasasi nga gavuga mu kabanga neweyali , era wayita akaseera katono n'afuna ssimu nga bamutegeeza ntu mutabani we Ssentongo yali attiddwa.
 
Amangi ddala yatuuka mu kifo awaali amasasi era nalaba abajaasi ba UPDF nga basazeeko ekifo nga bagobawoa abantu bonna, olwo nalaba mutabani we ng’agangalamye mu kitaba ky’omusaayi kyokka teebamukkiriza kutuuka weyali.
 
Mu kiseera ekyo Masagazi yawuira omujaasi ngagamba munne nti attiddwa mu butanwa naye tewali kyakola kubanga yali afudde.
 
Mu kwetegereza abajaasi, Masagazi yabalaba nga beebo abakuuma amaka ga Nyakairu era oluvanyuma poliisi yaggya netwala omulambo mu ggwanika kyokka yakanya kubuuza lwaki bamusse bamutegeeza nti ekikwekwekto kibadde ky’amaggye si poliisi.
 
Ku ggwanika e Mulago bagaana okumuwa omulambo gwa mutabani we nebamuwa nnamba ya Nyakairu amukubire asooke abakkirize okubawa omulambo era oluvayuma lw’okwogera naye yalagira ab’eggwanika bawe famire ya Masagazi omulambo gwa mutabani waabwe.
 
Nga February 28,2025 Masagazi yagenda ku poliisi e Buloba aggulewo kyokka teyayambibwa bwebamutegeeza nti Nyakairu yali yaggulawo omusango ku mugenzi nga January 20,2025 era fayiro yali etwaliddwa ki kitebe ekikulira okunonyereza ku misango.
 
Mu March 2025 famire ngeyambibwako bannamateeka baabwe bagenda ku CID nebasaba ebikwata ku fayri eyo nebabawa ngeriko gwakumenya edduuka nokubba ku fayiro nnamba CRB\025\2025. Alipoota agamba nti Ssentongo yattibwa oluvanyuma lw’okwekebejja ebifaananyi bya kkamera ebyaaga nga yali omu ku nabbi olwo Nyakairu nalagira abakuumi be bamukube amasasi.
 
Okutiibwa kwa Ssentongo aba famire bagamba nti Nyakairu nabakuumi befuula poliisi era kkooti nebasala omusango nebatta omwana waabwe ng’ebikolwa byabwe byali bimenya mateeka, si byabuntu, ng’ate bigyako omuntu eddembe okubeera ne famire ye.
 
Bano balumiriza nti Ssentongo teyaweebwa ddembe okwewozaako mu mbuga zamateeka okuwozesebwa mu bwenkanya nolwekyo baagala basasulwe obukadde 500 ssaako endala 4,560,000/= ezaakola ku by’okuziika byonna.
 
Baagala era kkooti eragire Nyakairu, omukuumi we ne ssabawolereza wa gavumenti basasule olwobulumi bwonna bwebatuusa ku famire nga base mutabani waabwe.