Agambibwa okunyaga essimu y'omukazi ng'amaze okwegatta naye asimattuse oggajambulwa

Omusajja abbye essimu y'omukazi gwabadde ava okwegatta naye mu bikolwa by'omukwano asimatusse okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw'omukazi gwabbye okukuba enduulu esombodde abatuuze.  

Robert Kintu nga bamukutte
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
Omusajja abbye essimu y'omukazi gwabadde ava okwegatta naye mu bikolwa by'omukwano asimatusse okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw'omukazi gwabbye okukuba enduulu esombodde abatuuze.
 
Bino bibadde Nabweru south mu munisipaali ye Nansana omusajja Robert Kintu bwakwatiddwa n'ayisibwamu empi oluvannyuma lw'omukazi Fatuma Nabirye 36 okumulumiriza okumubba nga bamaze okwetaba mu kikolwa ky'omukwano oluvannyuma akuliise ne ssente zabadde alina mu kasawo.
 
Kigambibwa nti bano okusisinkana kyaddiridde kintu okukubira Nabirye essimu nga amulabye mu mawulire nga anoonya omubeezi era ne basisinkana  mu loogi ya Buddu Rest House e Nabweru.
 
Wabula ye Kintu yasoose kukalambira nga Nabirye bwali muganziwe era nga baludde mu mukwano nga n'essimu yabadde abimuterekedde wabula oluvannyuma natandika okukyuusa ebigambo bye.
 
Rashid Masudi omu kubaddukirizze anyonyodde nti okukwata kintu kiddiridde Nabirye okukuba enduulu era yaddusiddwa ku poliisi e Nabweru.
 
Wano Aisha Nantongo akola kunsonga za bakyala wasabidde abakyala okubeera obulindaala ku basajja ababbi abasusse nga babalimba omukwano