Museveni asuubizza ku biruma abantu mu BugandaMuseveni Buganda

PULEZIDENTI Museveni asuubizza ba Buganda nti agenda kulwana okulaba ng’amalawo byonna ebibasoomooza kibayambe okwongera okuganyulwa mu nkulaakulana Gavumenti z’ereese.

Minisita Mutasingwa ng’ayogera eri abantu abaabadde balinze Pulezidenti ku kisaawe kya St. Cornelius e Kalagala mu Buikwe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni asuubizza ba Buganda nti agenda kulwana okulaba ng’amalawo byonna ebibasoomooza kibayambe okwongera okuganyulwa mu nkulaakulana Gavumenti z’ereese.
Bino bibadde mu bubaka obw’enjawulo bw’azze awa abantu b’asisinkanye mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo mu kaweefube gw’aliko ow’okutalaaga eggwanga lyonna ng’alondoola engeri ssente ez’oku miruka eza Parish Development Modal (PDM) gye zikozeseddwaamu okusobola okuleeta enkulaakulana.
Pulezidenti mu bitundu bya Buganda by’atambuddemu, akikkaatirizza nti obwavu kimu ku bizibu ebiruma abantu baamwo n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu kyokka n’agamba nti amaliridde okubulwanyisa ng’ayita mu nkola ya PDM eyatandika okuganyula Bannayuganda abaagyettanira mu ntandikwa.
Ku kyalo Buyego ekisangibwa mu ggombolola y’e Buvuma mu disitulikiti y’e Buvuma yawadde ekyokulabirako ekya ssemaka eyitibwa Wakko eyali omwavu kyokka kati alina ente ssatu n’ekyuma ekikuba kasooli n’agamba nti enkola ya PDM ono emaze okumuggya mu bwavu.
Mu ngeri y’emu, bwe yabadde ku kisaawe kya St. Cornelius ku kyalo Kalagala mu Buikwe, yaweze bw’agenda okulwanyisa obumenyi bw’amateeka omuli obubbi bw’ebisolo n’ebirime.
Enguudo, amasomero n’amasannyalaze yeeyamye okubitereeza mu Buganda kyokka n’agamba nti bino Gavumenti ne bw’eneebikola ng’abantu ssekinnoomu tebeerwanyeeko, enkulaakulana yandibayitako era ne basigala mu bwavu ng’abalala bagaggawadde. Wano we yasabidde buli muntu okwettanira enkola ya PDM.
Ku nsonga y’okugoba abantu ku ttaka mu Buganda, Pulezidenti yagambye nti kino kyakukoma kuba enkola eno yali ya bafuzi b’amatwale.
Mu zimu ku disitulikiti za Buganda Pulezidenti z’atambuddemu kuliko; Luweero, Mpigi, Buikwe, Buvuma, Mukono n’endal