Amyuka Ssabalamuzi wa Uganda, Dr Flavian Zeija, asabye abalamuzi okubeera abeegendereza nga bawa ensala mu misango gy'okuyita mu nkola y'okuteeseganya wakati w'abagugulana kibasobozese okufuna obwenkanya obw'enkomeredde.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse akulira eby'emisango gy'obumenyi bw'amateeka, omulamuzi David Matovu bwe yasomedde abalamuzi ku mukolo gw'okutendekebwa ku ngeri y'okusala emisango gy'okutabagana ogwategekeddwa ku kkooti enkulu mu Kampala.
Zeija yategeezezza nti okutendekebwa kwabalamuzi kuno kujidde mu kiseera kituufu nga essiga eddamuzi lirina ekiruubirirwa ku kukendeeza okwetuuma kw'emisango mu kkooti nga singa kino kibaawo,kijja kuyamba abantu okutandika okwesiga esiga eddamuzi.

Akola nga omuwandiisi w'essiga eddamuzi nga alamusa ku bamu ku balamuzi abetabye mu kutendekebwa ku kkooti enkulu mu Kampala
Ono yagaseeko nti enkola eno yakugenda maaso okwetoloola eggwanga lyonna era nga batandise nabalamuzi mu masekatti ge ggwanga.
Akulira ettendekero eriwomyemu omutwe mu kutendeka abalamuzi eriyitibwa Judicial Training institute Prof Andrew KhaukaJudicial yategeezezza nti mu kutendekebwa kuno abalamuzi bakuyiga engeri y'okuwandikamu ensala ennungi nga bayita mu nkola y'okuteeseganya,okuwangana amagezi wamu n'okusala entotto ku bizibu byebasanga nga bakozesa enkola eno.
Yabasabye okubeera abeteefuteefu ekimala nga basala emisango okuva ku ntandikwa okutuusa omusango gyegunaggweera kibasobozese okuwa ensala ya kkooti abantu gyebanaategera.
Wadde nga enkola eno oluusi tejjumbirwa bannamateeka, essiga eddamuzi ligamba nti bagezezaako okukola kyonna ekisoboka okulaba nga nabo babayisa mu kutebdekebwa okutali kumu.
Gimu ku misango egikolebwako mu nkola eno mwemuli emisango gya naggomola,egikwatagana ku byensimbi wamu ne gy'engassi