Amawulire

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region akubirizza abewandiisizza obutamenya maateeka ga by'okulonda

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region, Hajjat Sarah Bukirwa alabudde abewandisizza ku bifo by'obubaka obutagezaako kumenya mateeka ga byakulonda kuba kino kiyinza okubaviirako okusazibwamu.  

Hajati Sarah Bukirwa ng'ayogera
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region, Hajjat Sarah Bukirwa alabudde abewandisizza ku bifo by'obubaka obutagezaako kumenya mateeka ga byakulonda kuba kino kiyinza okubaviirako okusazibwamu.

Bukirwa agambye nti akakiiko kaataddewo ennaku ababaka kwebagenda okutandikira okunoonya akalulu nga mukino tebasuubira yesimbyewo yenna kukuyega balonzi ng'ennaku z'akakiiko tezinnatuuka.

Bukirwa era ategezezza nga bwe baatandise okusisinkana ababaka oluvannyuma lw'okubawandiisa okubabuulira  kye balina okukola ssaako okutegeka ennaku za kampeyini nga tebakonagana mubifo gye bagenda kunonyeza kalulu.

Alaze nti disitulikiti okuli Namisndwa Busia, Butebo, Kibuku, Kapcborwa ne Mbale zebaasokeddeko okusisinkana ababaka okubasomesa ku kiki kye balina okukola.

Tags: