Amawulire

"Ekyampisizzaamu nga sivuganyiziddwa kusoosowaza nsonga z'abantu ba bulijjo"

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala Anita Among agambye nti ekyamuviiriddeko okuyitawo obuterevu nga tavuganyiziddwa mu palamenti ey’e 12 kwe kusoosoowaza  ennyo ensonga z'abantu baabulijjo.

"Ekyampisizzaamu nga sivuganyiziddwa kusoosowaza nsonga z'abantu ba bulijjo"
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala Anita Among agambye nti ekyamuviiriddeko okuyitawo obuterevu nga tavuganyiziddwa mu palamenti ey’e 12 kwe kusoosoowaza  ennyo ensonga z'abantu baabulijjo.

Ofono Opondo n’abalala Nga baaniriza sipiika Among e Tororo

Ofono Opondo n’abalala Nga baaniriza sipiika Among e Tororo

Among eggulo akalulu ka pulezidenti Museveni yakawenjerezza mu disitulikiti y’e Tororo ng’akyaziddwa akulira okulondesa mu NRM, Dr. Tanga Odoi wamu n’akulira abavubuka ku kakiiko ka CEC Tanga Collins.

 

Yasookedde mu maka gaabwe e Kisoko mu West Budama North okwogerako ne banna NRM abeesimbyewo ku bwannamunigina.

Omu ku bavubuka Ng'alaga essanyu.

Omu ku bavubuka Ng'alaga essanyu.

Eno avuddeyo akyusizza abantu 4 endowooza n’abagamba nti tekinnabeera kikereezi okuva mu lwokaano ne balekera abakwatidde ekibiina bendera era n’abagamba ennyumba ya kitaabwe Museveni ekyalina ebifo nga buli omu bagenda kumufunira omulimu.

Wano era asabye abalwanyisa Tanga Odoi okumwesonyiwa nti bwe banaalwanisa omuntu waabwe ate bajja kufundikira nga be bafiiriddwa nga ekitundu.

 

Oluvanyuma yeeyongeddeyo ku Kisoko Boys Primary School gye baakubye olukung’aana n’agamba nti okuyitawo nga tavuganyiziddwa kivudde ku kuba nga asoosoowaza ensonga z’abavubuka naddala aba Ghetto, n’abakyala mu bukulembeze bwe ekibayambye okwekulaakulanya okusinga mu byenfuna.

 

Yategeezezza era nti kino kimuyambye okufuna obuganzi ne wabula amuvuganya. Yadde ng’omubaka omukyala ow’e Tororo Sarah Opendi era nga yalina bendera ya NRM talabiseeko ku mukolo guno, Among amusabidde akalulu n’agamba nti omulimu gwe kulaba nga buli alina bendera ya NRM ayitamu.

Ajjukizza abalonzi nti ensonga z’okwawulamu disitulikiti y’e Tororo zigenda mu maaso era nga n’enguudo ezeetagiisa kkolaasi ziri mu pulaani okukolebwako.

Omubaka wa munisipaali ya Tororo, Apollo Yeri asabye abazze ku bwannamunigina okuva mu lwokaano nti kubanga ebyava mu kamyufu tebijja kukyuka nnyo na bya kalulu kajja.

Tags:
Amawulire
Among
NRM
Mubaka