Abaafudde ye Rovincer Nasuuna 48 ne Esther Nakalema 3, nga bano baasangiddwa bafiiridde mu nnyumba oluvannyuma ly’okuteeka obukoko obuto mu nnyumba ate ne bakuma ssigiri okuteeka ebbugumu mu nnyumba ekyabaviiriddeko okufa.

OMugenzi Nassuuna.
Nakalema maama wa mubuulizi Samson Kisekka, ow’ekkanisa ya St Peters Kabaale church of Uganda. Bano ababiri okufa, omubuulizi yabadde awerekeddeko mukwano gwe okwanjulwa e Kyotera- Masaka era eno amawuulire gye gaabasanze.
Abatuuze okutegeera nti abantu bano kyandiba nga bafunye obuzibu zaawezze esaawa musanvu ogw’emisana nga tebaggulawo wano kwe kutandika okwebuuza wa mutuuze munnaabwe gye yalaze kyokka nga bakimanyi bulungi nti akeera kuggulawo.
Baatandise okutegeeza ku batuuze nabo abaakoze ekisoboka okulaba nga banoonyereza okutuuka bwe batuuse ku luggyi nga balaba lusibe ate nga abantu kiraga nti mwebali munda beebase.

Mubuulizi Kisekka nga bimusobedde.
Kino kyaleetedde abatuuze okuteebereza nti abantu bano kyandiba nga bafunye obuzibu okutuuka bwe baayise abakulembeze b’ekyalo ssaako polisii e Matugga, ne bamenya oluggyi ne babasanga nga bafu.
Nassuuna yafiiridde ku luggyi nga kiraga nti yabadde agezaako kulwanagana aggulewo ate ye omwana yabadde mu buliri.
Poliisi okuva e Matugga emirambo yagitutte mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago abasawo bagyekebejje.

Abagenzi nga bagenda okubasabira gye baabadde mu kkanisa.
Omubuulizi Kisekka mu kwogerako n’abakungubazi yagambye nti amawulire ag’okufa kw’abantu be gamusanze nga baakayingira ekidaala era byonna ebyabadde bigenda mu maaso ye yabadde tabitegeera okutuuka omukolo bwe gwawedde n’akomawo awaka.
Yannyonnyodde nti maama we waliwo eyamuwadde enkoko wabula kyandiba nga yatidde okufulumafuluma ennyumba n’asalawo enkoko azibugumize munda nga tamanyi nti ate olunaaziteekamu ayinza okufiirayo.
Abagenzi baaziikiddwa wiiki ewedde era omulabirizi w’e Mityana Ssaalongo Bukomeko yasabye abaweereza okubeera eky’okulabirako eri abantu be bakiikirira era beyise bulungi kuba singa si bantu bano osaanga mukadde tebandimutegedde mangu.