Ab’e Buddo balaajanye ku bumenyi bw’amateeka

ABAKULEMBEZE ku kyalo Maggwa e Buddo mu Kyengera own Council nga bali wamu ne poliisi baatuuzizza olukiiko lw’ebyokwerinda okusala amagezi g’okumalawo obumenyi bw’amateeka ku kitundu.

Akulira poliisi y’e Buddo, Ronald Okulut ng’ayogera mu lukiiko lw’ekyalo Maggwa olwabadde olw’ebyokwerinda.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE ku kyalo Maggwa e Buddo mu Kyengera own Council nga bali wamu ne poliisi baatuuzizza olukiiko lw’ebyokwerinda okusala amagezi g’okumalawo obumenyi bw’amateeka ku kitundu.
Olukiiko lwatudde ku Kitawuluzi era nga lwetabiddwaamu n’abatuuze.
Akulira poliisi ya Buddo Junior, Ronald Okulut yasinzidde mu ukiiko luno n’ategeeza nti, egimu ku misango gy’asinga okufuna gya kubba ttaka nga obuzibu
yabutadde ku bamu ku bakulembeze abakolagana ne ba bbulooka abafere ne batigomya abeebibanja.
“Abatuuze abamu mulina n’omuze gw’okusirikira abaanabammwe wadde nga mukimanyi nti, beenyigira mu bumenyi bw’amateeka, ekivaako
ebitundu byammwe okutabanguka. Mbasaba tukwatire wamu ku nsonga eno,’’
Okulut bwe yategeezezza.
Ssentebe wa Kyengera Town Council, Mathias Walukagga yategeezezza nti, ebikolwa by’ettemu ebyeyongedde mu Kyengera bivudde ku bantu abatayagala kukola n’abaagala eby’amangu n’alabula nti, anaakwatibwaako kajja kumujjuutuka. Walukagga era yasabye poliisi okussa essira mu kukola ebikwekweto emisana n’ekiro wamu n’okukomya omuze gw’okuyimbula  ababa bakwatiddwa. Kkansala atwala ekitundu kino, Juma Sempala yategeezezza nti, ebbula ly’emirimu mu bavubuka nalyo likoze kinene ku bumenyi bw’amateeka n’asaba bakulembeze banne okuba obumu basobole
okutereeza ebitundu byabwe. Ssentebe w’ekitundu kino, James Kibirige yalabudde abavubuka abakeera okunywa omwenge n’okuzannya zzaala nti, waakukwatagana
ne poliisi bakwatibwe. Bino we bijjidde nga tewannayita na mwezi nga ku kyalo kye Nabbingo mu Kyengera Town Council abatuuze babiri okuli, Proscovia Nakiwala ne Deogratius Lugoloobi baasangibwa battiddwa