NUP gwe yammye kkaadi okuvuganya ku bwammeeya bw’e kawempe yeewandisizza okuvuganya ku bwakkansala bwa Bwaise
Ku Lwokubiri akakiiko k’ebyokulonda mu kawempe kaakasizza abeegwanyizza obwakkansala ku miruka mu kawempe south mu bano mwe mwabadde Wasswa Juma Ssekyanzi omu ku baali beegwanyizza okukwatira Nup bendera okuvuganya ku bwammeeya kyokka ne bagiwaamu Sserunjogi.
Abamu Ku Beegwanyiza Obwakkansala Mu Kawempe South Nga Babakolako.(1)
Wasswa yagambye nti mu kulonda okwaggwa yavuganya ku bwammeeya bwa kawempe n’akwata kyakubiri yadde Nup yamummye kaadi teyamatidde.
Wano we yasinzidde okwesimbawo ku bwakkansala bwa Bwaise lll ku bwannamunigina ng’era alina essuubi nti agenda kiwangula.
Ssekyanzi Ng'essanyu Libula Okumutta
Abamu ku beewandisizza kuliko Haisha Nalunkuuma kkansala Mulago ll bamuwadde mmeezza, Godfrey Kateere MakerereI , Steven Mungi makerere III, Alex Pijjo Lwetute makerere III, Harruna Muwonge Mulago lll, Muhammad Kyobe Makererelll , VIvina Ssetimba Makerere IIl n’abalala.
Jenifer Kyobutungi akulira ebyokulonda mu Kampala yagambye nti bakomekerezza leero ku Lwokusatu yagambye nti okusunsulwa tekitegeeza nti batandike kkampeyini.