Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kirinyabigo e Kawanda mu diviizoni y’e Nabweru bwe bagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe ng’attiddwa mu bukambwe ng’abaamusse baasoose kumutuga n’oluvannyuma ne bamukuba akakumbi ku mutwe era bwe baalabye ng’afudde omulambo ne bagukasuka mu kalitunsi.

Abamu ku bateeberezebwa okuba mu kkobaane lino abaakwatiddwa poliisi
Attiddwa ye Peace Komugisha 65, ono abadde mutuuze ku kyalo Kirinnyabigo e Kawanda nga omulambo gwe gulabiddwa abamu ku bakozi babadde akola nabo oluvannyuma ly’okumunoonya olunaku lulamba nga tebamulaba ne basalawo okutegeeza abatuuze bwe batyo ne bamunoonya okutuuka bwe bamuzudde nga yattiddwa.
Ye amyuka ssentebe wa diviizoni y’e Nabweru Gibreal Ssebugwawo agambye nti abasse omukyala ono baamutiisizza na bukambwe kuba baasoose kumutuga ate oluvannyuma ne bamukuba akakumbi ku mutwe obwongo ne buyiika ng’omugenzi abadde yenna ajjudde enkwagulo ku mubiri gwe nga kiraga nti baasoose kumutulugunya.

Abantu baabulijjo nga baggyawo omulambo we gwasuuliddwa.
Oluvannyuma omulambo guteekeddwa ku kabangali ya poliisi okugutwala e Mulago era atwala poliisi y’e Kawanda Joseph Abinomugisha agambye nti baakutte babiri okuli Twinomujuni ne Agaba babayambeko okunoonyereza ku ttemu lino era omulambo gutwaliddwa e Mulago okusobola okukola okunoonyereza.