Amawulire

Munnamagye wa Rwanda bamutemyeko omutwe ne bakuulita nagwo!

ABAZIGU abatannategeerekeka batemyeko eyali munnamagye wa Rwanda omutwe, ekiwuduwudu ne bakisuula ku nsiko.

Munnamagye wa Rwanda bamutemyeko omutwe ne bakuulita nagwo!
By: Paddy Bukenya, Journalist @New Vision

ABAZIGU abatannategeerekeka batemyeko eyali munnamagye wa Rwanda omutwe, ekiwuduwudu ne bakisuula ku nsiko.

 

Sgt. Robert Kabeera (50) okuttibwa yasangiddwa ava mu bbaala emu nga bino byabaddewo ku Lwokutaano wiiki ewedde ku kyalo Luwala mu ggombolola y’e Kammengo mu Mpigi.

 

Muganda w'omugenzi ategeerekeseeko erya Oscar yategeezezza nti omugenzi yakedde kumunoonya mu maka ge e Luwala nga taliiyo.

 

Mu ttuntu yafunye essimu okuva ku ew’atwala ebyokwerinda ku kyalo nti balabye omulambo ogutannategeereka kwe kusitukiramu n'asanga nga Kabeera ye yattiddwa.

 

Baatemezza ku poliisi y’e Kammengo ne batuuka ewasuuliddwa omulambo ne bagwekebejja ne basangawo engatto ze n'essaati ye ng'ebunye omusaayi.

 

Omulambo gwa Kabeera gwasangiddwa gwasaliddwaako n’olugalo olumu era nga we gwasuuliddwa waabaddewo ensiitaano.

 

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe yategeezezza nti omugenzi yavudde e Kampala akawungeezi k'Olwokutaano n'alinnya boda emutwale mu maka ge n'abissaayo, olwo boda y'emu n'emutwala ku bbaala okumpi n'ewuwe.

 

Zaabadde ssaawa nga 1:00 ez'akawungeezi. Ku ssaawa 3:00, yazzeeyo awaka n'anona essimu ye n'addayo mu bbaala. Ku ssaawa 6:00, yatutte emmere ewuwe ate n'addayo mu bbaala era we baakomye okumulaba.

 

Abooluganda lwe baagenzeeko ku bbaala gye yabadde anywera ne babuuza omu ku bakolamu eyabategeezezza nti yavuddewo ekiro n'agenda. Poliisi yagguddewo omusango ku fayiro nnamba SD: 21/17/10/ 2026, omulambo ne gutwalibwa e Mulago.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Rwanda
Munnamagye
Kutema
Mutwe
Sgt. Robert Kabeera
Kammengo
Mpigi