OMUSUUBUZI akiguddeko , abazigu ababadde batambulira ku pikipiki nga 7 ,bwe bamunzingirizza ku pikipiki, ne bamunyagako essimu ssatu, omukuufu ogw’omu bulago n'ekikomo kya gold ekibalirirwamu obukadde 29.
Obunyazi buno, bubadde kumpi ne Mackinnon suites mu maaso ga Sudanese Embassy e Nakasero , ababbi ku bodaboda , bwe bafumbiikirizza Kenneth Mubazzi 30 nga musuubuzi wa mmotoka nkadde ne bamunyaga ku kifuba.

Ono gwe baagobye ne bakwata
Abadde ava Bukoto ng'adda Nakasero mu Kampala, kyokka oluvannyuma asobodde okukuba enduulu , abakuumi ku Embassy ya Sudan nabo ne batemya ku baserikale abakuuma ku Golf Course ne babagoba ne bakwatako omu Julius Waiswa 19 ne bazuula n'emu ku ssimu.
Pikipiki nnamba UMA 639PC nga kigambibwa nti esuuziddwa ababbi nga babagoba, nayo ezuuliddwa
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti , akwatiddwa abadde yaakayimbulwa okuva ku limanda e Luzira ku misango gy'okubba .