Amawulire

Ab'emmundu bakubye ssemaka amasasi agamusse ku ggeeti ye ng'ava ku mulimu

ABAZIGU ab'emmundu basindiridde ssemaka amasasi agamuttiddewo mu kiro ekikeesezza leero e Nsangi.

Ab'emmundu bakubye ssemaka amasasi agamusse ku ggeeti ye ng'ava ku mulimu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAZIGU ab'emmundu basindiridde ssemaka amasasi agamuttiddewo mu kiro ekikeesezza leero e Nsangi.

 

Ettemu libadde Manja Cell mu Kyengera Town Council e Wakiso, abazigu ab'emmundu, bwe bakubye Ediriisa Ssekandi 47  amasasi agamusse ku ssaawa nga 3:00 mu kiro ekikeesezza leero.

 

Ssekandi abadde musuubuzi era ng'abadde abeera mu zzooni eyo. Kigambibwa nti abadde ne mukyala we ne mutabani waabwe mu mmotoka ekika kya Subaru Forester nnamba UA 401 DN nga bava e Kitemu gye bakolera nga badda awaka e Manja .

 

Nga batuuse ku geeti, wano abatemu we bamukubidde amasasi agamuttiddewo oluvannyuma ne beeyongerayo nga poliisi etandise omuyiggo era n'esaba oyo yenna aliko ky'amanyi ku ttemu eryo, okubatemyako okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Mulimu
Ssemaka
Masasi
Kutta
Mmundu
Ggeeti
Ttemu