Abantu abawangaala n’akawuka ka mukenenya bawanjagidde Gavumenti eyongere amaanyi mu mulimu gw’okunoonyereza ku ddagala erigema akawuka kubanga kijja kuyambako n’abo abatakalina ssinga eddagala linaabeera lifunise.
Shakirah Namwanje Okuva Mu Unaso (ku Kkono), Moses Nsubuga (wakati) Ne Dr. Brenda Okech (ku Ddyo) Nga Baliko Bye Bannyonnyola.
Bano nga bakulembeddwamu ekitongole kya Uganda Network of Aids Service Organisation (UNASO) basinzidde ku Eureka Hotel e Ntinda nga bajjukira olunaku lw’okunoonyereza ku ddagala erigema akawuka kano olwa HIV Vaccine Research day olubeerawo nga May 18, buli mwaka.
Shakirah Namwanje omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya UNASO ategeezezza nga bwe waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso okuzuula eddagala erigema obulwadde buno kyokka ne basaba gavumenti okwongeramu amaanyi nga bw’ekola ku ndwadde endala zonna.
Namwanje ategeezezza nga okunoonyereza ku ddagala lino bwe kukoleddwa okumala emyaka egisoba mu 40 n’asaba abantu abalala okusitukiramu bakolere wamu omulimu guno kiyambeko okuzuula eddagala etuufu eriyinza okugema obulwadde buno.
Moses Nsubuga amanyiddwa nga Super Charger ng’ono awangadde n’akawuka kano okumala emyaka 34, ategeezezza nga bwe balina okukwataganira awamu nga banoonya eddagala erigema obulwadde buno.
Dr. Brenda Okech okuva mu kitongole kya Uganda Virus Research Institute era nga ye dayirekita wa HIV Vaccine Programme ategeezezza nga bwe bakyagenda mu maaso ne kaweefube ono n’ekigendererwa eky’okuzuulira ddala eddagala erigema akawuka kano.