Abatuuze bakakkanye ku musajja agambibwa okuba omubbi wa waya z'amasannyalaze, ne bamukuba ne bamutta.
Bibadde ku kyalo Buwalya mu ggombolola y'e Buwalya mu disitulikiti y'e Mayuge nga bukya, abatuuze bwe bafumbiikirizza abagambibwa okuba ababbi ba waya z'amasannyalaze ne battako omu, abalala ne badduka.
Kigambibwa nti bano, bajjidde mu mmotoka ekika kya Premio nti kyokka baabadde batandise okusala emiti nga bwe babba waya, ne babataayiza ne battako omu n'emmotoka UAG 718 K ne bagiteekera omuliro n'ebengeya.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.