Amawulire

Abasunsuddwa okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti mu butundu bya Ntebe, Nansana, Kira ne Makindye Ssaabagabo

AKULIRA eby’okulonda mu disitulikiti ya Wakiso, Tolbert Musinguzi yasoose kusunsula abo abaagala okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu munsiipaali ya Ntebe, Kira, Nansana ne Makindye Ssabagabo ssaako ekifo ky’omubaka omukazi owa Wakiso.   

Abasunsuddwa okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti mu butundu bya Ntebe, Nansana, Kira ne Makindye Ssaabagabo
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

AKULIRA eby’okulonda mu disitulikiti ya Wakiso, Tolbert Musinguzi yasoose kusunsula abo abaagala okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu munsiipaali ya Ntebe, Kira, Nansana ne Makindye Ssabagabo ssaako ekifo ky’omubaka omukazi owa Wakiso.
Beth Kayesu Nankunda owa NRM eyabadde mu gomesi ya kyenvu yasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Wakiso ne Betty Ethel Naluyima owa NUP naye yasunsuddwa okuvuganya kukifo kye kimu ng’ono yanekanekanye mu ggomesi emyufu.
Abalala kwaabaddeko Irene Komurungi atalina kibiina naye yasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Wakiso ne Joan Nabatanzi owa PFF eyazze ku kifo kyekimu. David Serukenya owa NUP yasunsuddwa okuvuganya kukifo ky’omubaka wa Makindye Ssabagabo.
Rose Kirabira eyavuganya mu kamyufu ka NRM wabula nawangulwa, yasunsuddwa ku bwa nnamunigina okuvuganya kukifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti ya Wakiso, ono era yaliko RDC wa disitulikiti ya Wakiso.
Shyaka Stephen Sseryazi owa NRM yasunsuddwa okuvuganya kukifo ky’omubaka wa munisipaali ya Ntebe. Joyce Nabatta Namuli owa NUP yasunsuddwa okuvuganya kukifo kye kimu. Mukulonda okuwedde yajja ku bwa namunigina era nebamuwangula.
Micheal Kakembo Mbwatekamwa omubaka aliyo e Ntebe ku kaadi ya NUP yasunsuddwa ku kibiina kya Democratic Front ate nga Vincent Kayanja De Paul eyali meeya wa Ntebe yasazeewo avuganye ku ky’obubaka bwa munisipaali ya Ntebe ku kaadi ya NUP.

Tags: